bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 17
Joshua 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Mu kalulu, ab'Ekika kya Manasse omwana wa Yosefu omuggulanda, ne baweebwa ekitundu kibe ekyabwe. Makiri, kitaawe wa Gileyaadi, era omwana wa Manasse omuggulanda, yali muzira mu ntalo kyeyava aweebwa Gileyaadi ne Basani.
2
Era mu kalulu, ekitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani ne kiweebwa ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Manasse abalala: Abiyezeeri, ne Heleki, ne Asuriyeeli, ne Sekemu, ne Heferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manasse mutabani wa Yosefu, abakulu b'ennyumba.
3
Zelofehaadi mutabani wa Heferi, azaalibwa Gileyaadi, omwana wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala bokka. Amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa, ne Hogula, ne Milika, ne Tiruza.
4
Abo ne bagenda eri Eliyazaari kabona n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Mukama yalagira Musa okutuwa mu bannyinaffe ettaka okuba eryaffe.” Kyebaava baweebwa ettaka mu bannyinaabwe nga Mukama bwe yalagira.
5
Bw'atyo Manasse n'afuna ebitundu kkumi ebyeyongera ku Gileyaadi ne Basani ebiri ku ludda lwa Yorudaani olw'ebuvanjuba. Yafuna ebyo byonna
6
kubanga ne bazzukulu be abawala nabo baaweebwa ettaka. Ensi ey'e Gileyaadi yali yaweebwa dda bazzukulu ba Manasse abalala.
7
Ekitundu kya Manasse kyava ku Aseri okutuuka ku Mikumetati ebuvanjuba bwa Sekemu. Ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, okuzingiramu abantu b'e Entappuwa.
8
Ekitundu ekyetoolodde Tappuwa kyaba kya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo, ne kiba kya Efurayimu.
9
Kale ensalo n'ekka okutuuka ku Mugga Kaana. Ebibuga eby'omu bukiikakkono obw'omugga, byali bya Efurayimu, newaakubadde nga byali mu kitundu kya Manasse. Ensalo ya Manasse yayita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
10
Efurayimu yali ku ludda olw'ebukiikaddyo, Manasse n'aba ku ludda olw'ebukiikakkono, ng'Ennyanja Eyaawakati ye nsalo yaabwe mu bugwanjuba. Ne batuuka ku Aseri ku ludda olw'ebukiikakkono ku ludda olw'ebuvanjuba.
11
Mu kitundu kya Yissakaari n'ekya Aseri, Manasse n'afunayo Beti Saani ne Yibuleyaamu, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne Doori, ne Endori, ne Taanaki, ne Megiddo n'ebyalo ebibyetoolodde.
12
Naye bazzukulu ba Manasse ne batasobola kugobamu bantu abaali mu bibuga ebyo. Kale Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo.
13
Abayisirayeli ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanaani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu.
14
Bazzukulu ba Yosefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?”
15
Yoswa n'addamu nti: “Oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efurayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abareefa.”
16
Bazzukulu ba Yosefu ne baddamu nti: “Ne bwe tunaakola bwe tutyo, era ensi ey'ensozi tetumala. Ate tetusobola kusenga mu nsenyi kubanga Abakanaani abali mu Beti Saani n'ebyalo ebikyetoolodde, n'abo abali mu Kiwonvu ky'e Yezireeli, balina amagaali ag'ebyuma.”
17
Yoswa n'agamba ab'ennyumba ya Yosefu, bye bika ekya Efurayimu n'ekya Manasse nti: “Nga bwe muli abangi ennyo era ab'amaanyi, temujja kufuna mugabo gumu.
18
Ensi yonna ey'ensozi eneeba yammwe. Newaakubadde nga ya kibira, mujja kukisaawa, kibe kyammwe okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, era Abakanaani mulisobola okugibagobamu newaakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma era nga ba maanyi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24