bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 20
Joshua 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Mukama n'agamba Yoswa
2
okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mulonde ebibuga eby'okuddukirangamu bye nalagira Musa okubategeezaako.
3
Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga.
4
Anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'agenda mu kifo awasalirwa emisango, ku mulyango gw'ekibuga, n'annyonnyola abakulembeze ebibaddewo. Awo banaamukkirizanga okuyingira mu kibuga, ne bamuwa ekifo aw'okubeera, n'abeera omwo.
5
Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anaamugobererangayo, ab'omu kibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye. Banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa.
6
Eyatta omuntu anaasigalanga mu kibuga omwo okutuusa ng'amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina ky'abantu, era okutuusa nga Ssaabakabona abeerawo mu nnaku ezo amaze okufa. Olwo omuntu oyo n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe gye yadduka.”
7
Ku ludda olw'ebugwanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Kedesi eky'omu Galilaaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, ne Heburooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
8
Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Bezeri eky'ab'Ekika kya Rewubeeni, ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, ne Ramoti eky'ab'Ekika kya Gaadi mu Gileyaadi, ne Golani eky'ab'Ekika kya Manasse mu Basani.
9
Bino bye byali ebibuga eby'okuddukirangamu, ebyalondebwa Abayisirayeli bonna na buli mugwira abeera mu bo, buli attanga omuntu nga tagenderedde, addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo amunoonya okuwoolera eggwanga, okutuusa ng'amaze okuwoleza mu maaso g'ekibiina ky'abantu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24