bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 5
Joshua 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Awo bakabaka bonna ab'Abaamori abaali ku ludda lwa Yorudaani olw'ebugwanjuba ne bakabaka ab'Abakanaani abaali ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati, bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi ga Yorudaani okutuusa Abayisirayeli lwe baamala okusomoka, ne batya nnyo, ne baggwaamu amaanyi olw'Abayisirayeli.
2
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kola obwambe obw'amayinja, okomole Abayisirayeli abo abatakomolebwanga.”
3
Yoswa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'akomola Abayisirayeli ku lusozi oluyitibwa olw'Okukomola.
4
Yoswa yabakomola lwa nsonga. Weewaawo Abayisirayeli okuva e Misiri abasajja bonna baali bakomole. Naye mu bbanga ery'emyaka amakumi ana, Abayisirayeli gye baatambula mu ddungu, abaana ab'obulenzi tebaakomolebwanga. N'ekirala, ebbanga eryo we lyaggweerako, abasajja bonna abaali basobola okulwana olutalo we baaviira mu Misiri, baali bafudde baweddewo, kubanga baali bajeemedde Mukama. Abo Mukama yalayira obutabaganya kulaba ku nsi ngimu era ngagga gye yasuubiza bajjajjaabwe.
7
Batabani ba bano tebaali bakomole. Abo Yoswa be yakomola.
8
Okukomolebwa bwe kwaggwa, eggwanga lyonna ne lisigala mu lusiisira, abakomole ne bamala okuwona.
9
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Olwaleero mbaggyeeko okuswala kwe mwalimu e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Gilugaali ne kaakano.
10
Abayisirayeli bwe baali bakyasiisidde e Gilugaali mu lusenyi olw'e Yeriko, ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mu kawungeezi k'olunaku lw'omwezi olw'ekkumi n'ennya.
11
Olunaku olwaddirira, lwe baasookerako okulya emmere gye baalima mu nsi y'e Kanaani: emmere ey'empeke ensiike n'emigaati egitazimbulukusiddwa.
12
Olwo ne mannu n'erekera awo okugwa, Abayisirayeli ne bataddayo kugifuna. Okuva olwo ne balyanga emmere erimwa mu nsi y'e Kanaani.
13
Yoswa bwe yali okumpi ne Yeriko, n'alaba omusajja ayimiridde mu maaso ge, ng'akutte ekitala ekisowole. Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti: “Oli omu ku ffe oba oli omu ku balabe baffe?”
14
Oli n'addamu nti: “Nedda; naye nze mukulu w'eggye lya Mukama. Kaakano ntuuse.” Yoswa n'avuunama mu maaso ge n'asinza. N'agamba nti: “Mukama wange, ndi muweereza wo, kiki ky'oyagala nkole?”
15
Omukulu w'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti: “Yambulamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24