bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 11
Joshua 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Awo Yabini kabaka wa Hazori bwe yawulira ebyo, n'atumira Yobabu kabaka wa Madoni, kabaka wa Simurooni n'owa Akusafu,
2
ne bakabaka abaali mu nsi ey'ensozi mu bukiikaddyo obw'Ennyanja y'e Galilaaya, ne mu nsenyi ne mu nsozi, ne ku lubalama okuliraana Doori.
3
Era n'atumira n'Abakanaani abaali ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwa Yorudaani, n'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi mu nsi ey'ensozi, n'Abahiivi mu nsi y'e Mizupa, Olusozi Herumooni gye lusimba.
4
Ne bajja n'amagye gaabwe gonna, ng'obungi bali ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era baalina embalaasi nnyingi nnyo n'amagaali.
5
Bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana, ne bajja basiisira ku mazzi g'e Meromu okulwanyisa Yisirayeli.
6
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya abo, kubanga enkya mu kiseera nga kino, nja kuba nga mmaze okubagabula eri Yisirayeli, nga bafu. Embalaasi zaabwe ojja kuzitema enteega, amagaali gaabwe ogookye omuliro.”
7
Awo Yoswa n'ajja ng'ali n'abalwanyi be bonna, n'abazinduukiriza ku mazzi g'e Meromu nga tebamanyi.
8
Mukama n'awa Abayisirayeli okubawangula, Abayisirayeli ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefooti-Mayiimu, ne ku Kiwonvu ky'e Mizupa mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu.
9
Yoswa n'abakolako Mukama kye yamulagira: embalaasi zaabwe n'azitema enteega, amagaali gaabwe n'agookya omuliro.
10
Awo Yoswa n'adda emabega mu kiseera ekyo, n'awamba Azoni n'atta kabaka waamu. Mu biseera ebyo Hazori kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
11
Ne batta abantu bonna abaakirimu, ne batalekaawo n'omu nga mulamu, n'ekibuga ne bakyokya omuliro.
12
Yoswa n'awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baamu, n'atta buli muntu nga Musa, omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
13
Naye ebibuga ebyazimbibwa ku bifunvu, oba ku busozi, tebaayokyako na kimu, okuggyako Hazori kyokka. Ekyo Yoswa kye yayokya.
14
Abayisirayeli ne beetwalira omunyago gw'ebyobugagga byonna n'amagana, bye baggya mu bibuga ebyo. Naye ne batta buli muntu obutalekerawo ddala n'omu nga mulamu.
15
Mukama ye yawa bw'atyo omuweereza we Musa ebiragiro, Musa n'abiwa Yoswa, ne Yoswa n'abituukiriza. Teyalekayo kintu na kimu Mukama kye yalagira Musa.
16
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna ey'ensozi n'ey'ensenyi mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, n'ekitundu kyonna eky'e Goseni, n'ensi enkalu ey'ebugwanjuba bwakyo, era n'Ekiwonvu kya Yorudaani,
17
n'okuva ku Lusozi Halaki okwambuka e Seyiri, okutuuka e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, wansi w'Olusozi Herumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba n'abatta.
18
Yoswa n'alwawo ng'alwanyisa bakabaka b'ebitundu ebyo byonna.
19
Tewali kibuga kyakola ndagaano ya kutabagana na Bayisirayeli okuggyako Gibiyoni, ekyalimu abamu ku Bahiivi. Ebirala byonna byawambibwa mu lutalo.
20
Mukama ye yakakanyaza emitima gy'abantu baamu okujja okulwanyisa Abayisirayeli, balyoke battibwe awatali kisa, era bazikiririzibwe ddala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
21
Mu biseera ebyo, Yoswa n'agenda n'azikiriza Abaanaki mu nsi ey'ensozi, mu Heburooni, mu Debiri, mu Anabu, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Buyudaaya ne Yisirayeli. Yoswa n'abazikiririza ddala n'ebibuga byabwe.
22
Tewali Baanaki baasigalawo mu nsi y'Abayisirayeli, okuggyako mu Gaaza ne mu Gaati ne mu Asudoodi.
23
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eyo ebe yaabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula entalo, n'eba mirembe.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24