bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 3
Joshua 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Ku lunaku olwaddirira, Yoswa n'Abayisirayeli baakeera mu makya, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yorudaani, ne basiisira awo nga tebannasomoka.
2
Bwe waayitawo ennaku ssatu, abakulembeze ne bayitaayita mu lusiisira,
3
ne bagamba abantu nti: “Bwe munaalaba Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, Katonda wammwe, nga bakabona Abaleevi bagyetisse, ne mulyoka muva mu bifo byammwe, ne mugigoberera,
4
mulyoke mumanye ekkubo lye mugwanidde okukwata, kubanga ekkubo lino mubadde temuliyitangamu. Naye Essanduuko ey'Endagaano temugisemberera. Munaalekawo ebbanga lya kilomita ng'emu wakati wammwe nayo.”
5
Yoswa n'agamba abantu nti: “Mwetukuze, kubanga enkya, Mukama ajja kukola ebyamagero mu mmwe.”
6
Awo n'agamba bakabona nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, mukulemberemu abantu.” Ne bagisitula, ne bakulemberamu.
7
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kye nnaakola olwaleero, kinaaleetera Abayisirayeli bonna okutandika okukussaamu ekitiibwa, n'okukumanya nga ndi naawe, nga bwe nali ne Musa.
8
Lagira bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano nti bwe batuuka mu mazzi g'Omugga Yorudaani, basigale nga bagayimiriddemu.”
9
Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mujje wano muwulire Mukama, Katonda wammwe by'agamba.
10
Ku kino kwe munaategeerera nga Katonda Nnnannyinibulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba Bakanaani na Bahiiti na Bahiivi na Baperezi, na Bagirugaasi, na Baamori, na Bayebusi mmwe nga mulaba.
11
Mulabe, Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama w'ensi zonna ebakulembeddemu okusomoka Yorudaani.
12
Kale kaakano mulonde abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika kya Yisirayeli.
13
Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama bwe banaalinnya mu mazzi, Omugga Yorudaani gujja kulekera awo okukulukuta, amazzi agava engulu, geetuume wamu entuumu.”
14
Abantu bwe baava mu weema zaabwe okusomoka Yorudaani, bakabona ne babakulemberamu nga basitudde Essanduuko ey'Endagaano.
15
Bakabona abo abasitudde Essanduuko bwe baatuuka ku Yorudaani, ne balinnya mu mazzi gaagwo agaali gaaladde ku mbalama zaagwo zonna mu biseera byonna ebyo eby'amakungula,
16
amazzi agava engulu ne galekera awo okukulukuta, ne geetuuma wamu entuumu, ebbanga ddene, okuviira ddala ku Adamu ekibuga ekiriraanye Zaretaani. Ago agakkirira ku Nnyanja ey'e Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera okumpi ne Yeriko.
17
Abayisirayeli bonna ne bayita awakalu, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano bayimiridde awakalu wakati mu Mugga Yorudaani, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyamala okusomoka.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24