bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 12
Joshua 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Bano be bakabaka b'ensi, Abayisirayeli be baawangula ne beefuga ensi yaabwe emitala wa Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba ne beefuga ensi yaabwe okuva ku Kiwonvu ekya Arunoni okwambuka n'Ekiwonvu ekya Yorudaani, okutuuka ku Lusozi Herumooni mu bukiikakkono: baawangula
2
Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Obwakabaka bwe bwazingirangamu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okuva ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu wakati, okutuuka ku Mugga Yabboki, ensalo y'Abammoni.
3
Era bwatwalirangamu Ekiwonvu ekya Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya, mu bukiikaddyo, okutuuka e Betiyesimooti ebuvanjuba bw'Ennyanja y'Omunnyo n'okweyongerayo, okutuuka wansi w'Olusozi Pisuga.
4
Era baawangula ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali omu ku Bareefa abaasembayo, eyafugiranga mu Asitarooti ne mu Edureyi.
5
Obwakabaka bwe bwazingirangamu Olusozi Herumooni, ne Saleka, ne Basani yonna, okutuuka ku nsalo ya Gesuri ne Maaka, awamu n'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo y'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni.
6
Musa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, ebe yaabwe.
7
Yoswa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka bonna mu kitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani, okuva e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, okutuuka ku Lusozi Halaki, okwambuka e Seyiri. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eno, ebe yaabwe, buli kika ng'akiwa ekitundu ekyakyo.
8
Ekitundu ekyo kyazingirangamu ensi ey'ensozi n'ensi ey'ensenyi, n'Ekiwonvu kya Yorudaani, n'obusozi obw'ebuvanjuba, n'eddungu, n'ensi ey'omu bukiikaddyo. Ekitundu ekyo mwe mwabeeranga Abahiiti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi.
9
Abayisirayeli baawangula bakabaka b'ebibuga bino: Yeriko, Ayi ekiriraanye Beteli,
10
Yerusaalemu, Heburooni,
11
Yalamuti, Lakisi,
12
Egulooni, Gezeri,
13
Debiri, Gederi,
14
Horuma, Aradi,
15
Libuna, Adullamu,
16
Makkeda, Beteli,
17
Tappuwa, Eferi,
18
Afeki, Lasarooni,
19
Madoni, Hazori,
20
Simurooni, Merooni, Akusafu,
21
Taanaki, Megiddo,
22
Kedesi, Yokuneyaamu ku Karumeeli,
23
Doori ku lubalama, Goyiimu mu Gilugaali, ne
24
Tiruza, bonna wamu bakabaka amakumi asatu mu omu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24