bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 16
Joshua 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Ensalo ey'omu bukiikaddyo ey'ekitundu ekyaweebwa bazzukulu ba Yosefu mu kalulu, yatandikira ku Mugga Yorudaani okumpi ne Yeriko ebuvanjuba w'ensulo z'amazzi ez'e Yeriko, n'eraga mu ddungu. N'egenda okuva e Yeriko okwambuka mu nsi ey'ensozi, okutuuka e Beteli.
2
Okuva e Beteli n'eraga e Luuzi, ng'eyitira ku Atarooti Addari, ensi y'Abaruki.
3
Awo ensalo n'ekka ku ludda olw'ebugwanjuba, okutuuka ku nsalo n'Abayafuleeti, okutuukira ddala ku kitundu ky'e Betooroni ekya wansi. Okuva awo ne yeeyongerayo okutuuka e Gezeri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
4
Bazzukulu ba Yosefu, abasibuka mu Efurayimu ne Manasse, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga kyabwe.
5
Kino kye kitundu ab'ennyumba z'abazzukulu ba Efurayimu kye baafuna: ensalo yaabwe yava ku Atarooti Addari ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku Betooroni eky'engulu.
6
Okuva awo n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Mikumetati kyabali mu bukiikakkono. Ku ludda olw'ebuvanjuba, ensalo n'ekyuka okwolekera Taanati Siilo, n'ekiyitako ku ludda olw'ebuvanjuba, n'eraga e Yanowa.
7
N'eva ku Yanowa, n'ekiika ku Atarooti ne Naara, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yorudaani.
8
Ensalo n'egenda ebugwanjuba okuva ku Tappuwa, okutuuka ku Mugga Kaana, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Ekyo kye kitundu ekyaweebwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Efurayimu ebeerenga eyaabwe,
9
wamu n'ebibuga n'ebyalo ebimu, ebyali mu kitundu kya bazzukulu ba Manasse, naye ekyaweebwa Abeefurayimu.
10
Kyokka tebaagobamu Bakanaani abaali mu Gezeri. Awo Abakanaani ne babeera wamu n'Abeefurayimu n'okutuusa kati, era ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24