bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 9
Joshua 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Awo obuwanguzi bwa Yoswa ne buwulirwa mu bakabaka bonna ab'omu bugwanjuba bwa Yorudaani, mu nsozi ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'Ennyanja Eyaawakati, okutuukira ddala ku Lusozi Lebanooni. Abo be bakabaka b'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.
2
Bonna ne bakuŋŋaanira wamu okulwanyisa Yoswa n'Abayisirayeli.
3
Naye abatuuze b'e Gibiyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne ku Ayi,
4
ne basala amagezi. Ne bagenda ne basiba ebyokulya. Ne bateeka ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'ensawo z'omwenge ez'amaliba enkadde ezikubiddwamu ebiraka.
5
Ne bambala engoye ezikaddiye, n'engatto ezikaddiye era ezikubiddwamu ebiraka. N'emmere yaabwe yonna ey'entanda yali ekaliridde, ng'ekutte n'obukuku.
6
Ne bajja mu lusiisira e Gilugaali, ne bagamba Yoswa n'Abayisirayeli nti: “Tuvudde mu nsi ya wala. Twagala mukole naffe endagaano ey'okutabagana.”
7
Abayisirayeli ne bagamba Abahiivi abo nti: “Bwe muba nga muli ba kumpi naffe, kale tunaakola tutya nammwe endagaano ey'okutabagana?”
8
Ne bagamba Yoswa nti: “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti: “Mmwe baani? Era muva wa?”
9
Ne bamuddamu nti: “Ffe abaddu bo tuvudde mu nsi ya wala nnyo okujja wano, kubanga twawulira ku Mukama, Katonda wo. Twawulira ettutumu lye ne byonna bye yakola mu Misiri,
10
ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, abaali mu buvanjuba bwa Yorudaani: Sihoni, kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali mu Asitarooti.
11
Abakulembeze baffe n'abantu bonna abali mu nsi yaffe, baatugamba okusibira olugendo luno entanda n'okujja okubasisinkana mmwe, tubategeeze nga tuli baddu bammwe, n'okubasaba mukole naffe endagaano ey'okutabagana.
12
Emmere yaffe yiino. Twagisiba entanda nga tukyali ka, ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli. Naye kaakano, yiino ekaliridde, era ekutte obukuku.
13
N'ensawo ez'omwenge zino ez'amaliba, twazijjuza nga mpya. Naye mulabe! Ziizino ziyuliseyulise! N'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe, bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.”
14
Abayisirayeli ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne bateebuuza ku Mukama.
15
Yoswa n'akola n'abantu b'e Gibiyoni endagaano ey'okutabagana, n'abalagaanya obutabatta. Abakulembeze b'ekibiina ky'Abayisirayeli ne babalayirira okukuuma endagaano eyo.
16
Bwe waayitawo ennaku ssatu nga bamaze okukola endagaano eyo, Abayisirayeli ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala.
17
Abayisirayeli ne batambula, era mu nnaku ssatu ne batuuka mu bibuga byabwe Gibiyoni ne Kefira, ne Beetoti ne Kiriyati Yeyariimu.
18
Naye Abayisirayeli ne batabatta, kubanga abakulembeze baabwe baali babalayiridde Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze.
19
Naye abakulembeze bonna ne babaddamu nti: “Abantu bano twabalayirira Mukama Katonda wa Yisirayeli. Kale kaakano tetuyinza kubakolako kabi.
20
Kye tunaabakolera kwe kubaleka nga balamu, Mukama aleme kutusunguwalira olw'ekirayiro kye twabalayirira.”
21
Abakulembeze era ne bagamba nti: “Mubaleke nga balamu, basennyerenga enku era basenerenga amazzi ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.”
22
Yoswa n'atumya abantu b'e Gibiyoni, n'ababuuza nti: “Lwaki mwatulimba nga mugamba nti muli ba wala nnyo, sso ate nga muli ba wano kumpi?
23
Kale kaakano mukolimiddwa. Abantu bammwe banaabanga baddu bulijjo, abanaasennyeranga enku era abanaaseneranga amazzi Ennyumba ya Katonda wange.”
24
Ne bamuddamu nti: “Ssebo, ekyo twakikola, kubanga ffe abaddu bo, twawulira nti ddala kituufu nga Mukama, Katonda yalagira omuweereza we Musa okubawa mmwe ensi eno yonna, n'okutta abantu bonna abagirimu nga mujja. Bwe mwajja, ne tutya nnyo nti mujja kututta, kyetwava tukola ekyo.
25
Kaakano tuli mu mikono gyo. Tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.”
26
Era Yoswa kye yakola kwe kubakuuma, n'ataganya Bayisirayeli kubatta.
27
Wabula okuva olwo n'abalagira okusennyeranga enku n'okukimiranga amazzi Abayisirayeli ne alutaari ya Mukama, mu kifo Mukama ky'anaasiimanga. Ogwo gwe mulimu gwe bakyakola ne kaakano.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24