bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 10
Joshua 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Awo Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemu, n'awulira nga Yoswa awambye era ng'asaanyirizzaawo ddala Ayi, n'atta ne kabaka waakyo, nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo. Era n'awulira ng'ab'e Gibiyoni bakoze endagaano ey'okutabagana n'Abayisirayeli, era nga babeera mu bo.
2
Abantu b'e Yerusaalemu ne batya nnyo, kubanga Gibiyoni kyali kibuga kinene, ng'ekibuga ekirala kyonna ekyalimu kabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, n'abantu baayo nga balwanyi ba maanyi.
3
Awo Adonizedeki n'atumira Kabaka Hohamu ow'e Heburooni ne Kabaka Piramu ow'e Yarumuti, ne Kabaka Yafiya ow'e Lakisi, ne Kabaka Debiri ow'e Egulooni nti:
4
“Mujje munnyambe okulumba Gibiyoni, kubanga abantu baakyo bakoze endagaano ey'okutabagana ne Yoswa n'Abayisirayeli.”
5
Bakabaka bano abataano ab'Abaamori: ow'e Yerusaalemu n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yerumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni, ne beegatta wamu ne batwala amagye gaabwe gonna, ne basiisira okwebungulula Gibiyoni, ne bakirwanyisa.
6
Awo ab'e Gibiyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Gilugaali nti: “Toyabulira baddu bo. Jjangu mangu gye tuli, otudduukirire, otuwonye! Bakabaka bonna ab'Abaamori ababeera mu nsi ey'ensozi beetabye wamu ne batulumba.”
7
Awo Yoswa n'ava e Gilugaali n'eggye lye lyonna, omuli n'abalwanyi bonna ab'amaanyi.
8
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mmaze okubateeka mu mikono gyo. Tewaabe n'omu mu bo anaasobola kukwesimbako.”
9
Ekiro kyonna Yoswa n'atambula n'eggye lye, okuva e Gilugaali, n'azinduukiriza Abaamori nga tebamanyi.
10
Mukama n'akuba Abaamori entiisa, nga balabye Abayisirayeli. Abayisirayeli ne babattamu bangi nnyo e Gibiyoni, ne babawondera mu kkubo eryambuka e Betooroni, ne babakuba okutuusiza ddala e Azeka ne Makkeda.
11
Awo Abaamori bwe baali nga badduka Abayisirayeli, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abattibwa Abayisirayeli.
12
Ku lunaku Mukama lwe yaweerako Abayisirayeli okuwangula Abaamori, Yoswa n'ayogera ne Mukama mu maaso g'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Ggwe enjuba, yimirira waggulu wa Gibiyoni. Naawe omwezi, yimirira waggulu w'Ekiwonvu Ayalooni.”
13
Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba.
14
Tebangawo lunaku, era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Yisirayeli!
15
Ebyo bwe byaggwa, Yoswa n'akomawo n'Abayisirayeli bonna mu lusiisira e Gilugaali.
16
Awo bakabaka abo abataano ab'Abaamori ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda.
17
Ne wabaawo abaabuulira Yoswa nti: “Bakabaka tubalabye nga beekwese mu mpuku e Makkeda.”
18
Yoswa n'agamba nti: “Muyiringise amayinja amanene mugateeke mu mulyango gw'empuku, muteekewo n'abakuumi.
19
Naye mmwe temusigala awo. Muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega. Temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe. Mukama abawadde mmwe okubawangula.”
20
Awo Yoswa n'Abayisirayeli ne bamaliriza okutta abantu abangi ennyo kumpi okubamalirawo ddala, mu bibuga ebiriko ebigo.
21
Olwo Abayisirayeli bonna ne bakomawo mirembe mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda. Tewali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma wadde okwogera obubi ku Bayisirayeli.
22
Awo Yoswa n'agamba nti: “Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano, mubandeetere.”
23
Ne baggulawo empuku, ne baggyamu bakabaka abataano: ow'e Yerusaalemu, n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yarumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni.
24
Ne babaleeta eri Yoswa. Yoswa n'ayita abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abakulembeze b'abalwanyi abaagenda naye nti: “Mujje mulinnye ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne balinnya ebigere byabwe mu bulago bwa bakabaka abo.
25
Awo Yoswa n'agamba abakulembeze nti: “Temutya, era temuggwaamu maanyi, era mugume omwoyo, kubanga kino Mukama ky'agenda okukola ku balabe bammwe bonna be munaalwanyisa.”
26
Awo Yoswa n'atta bakabaka abo, emirambo gyabwe n'agiwanika ku miti etaano, ne gibeerayo okutuusa olweggulo.
27
Enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggyayo emirambo gyabwe, ne gisuulibwa mu mpuku mwe baali beekwese okusooka, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, agakyaliwo n'okutuusa kati.
28
Ku lunaku olwo, Yoswa n'alumba era n'awamba Makkeda ne kabaka waamu. N'atta buli muntu eyakirimu, obutalekaawo n'omu. N'akola ku kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola ku kabaka w'e Yeriko.
29
Awo Yoswa n'ava mu Makkeda ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Labuna n'akirumba.
30
Mukama n'awa Abayisirayeli nakyo okukiwangula ne kabaka waamu. Ne batta abaakirimu bonna, obutataliza n'omu. Ne bakola ku kabaka waamu nga bwe baakola ku kabaka w'e Yeriko.
31
Yoswa n'ava mu Libuna ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Lakisi, n'akyebungulula.
32
Mukama n'awa Abayisirayeli okuwangula Lakisi ku lunaku olwokubiri. Nga bwe baakola e Libuna, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu.
33
Kabaka Horamu ow'e Gezeri n'ajja okuyamba Lakisi. Kyokka Yoswa n'amuwangula ye n'abantu be, n'atalekaawo n'omu nga mulamu.
34
Awo Yoswa n'ava mu Lakisi ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Egulooni, n'asiisira okukyebungulula, n'akirwanyisa.
35
Ne bakiwamba ku lunaku olwo lwe lumu, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola e Lakisi.
36
Awo Yoswa n'ava mu Egulooni ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Heburooni, n'akirwanyisa.
37
Ne bakiwamba, ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaakirimu, n'abaali mu bubuga bwakyo bwonna, nga tebataliza muntu n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola mu Egulooni. Yoswa n'akizikiririza ddala, n'atalekaamu muntu n'omu nga mulamu.
38
Yoswa n'akomawo n'eggye lye lyonna e Debiri, n'akirwanyisa.
39
N'akiwamba ne kabaka waamu, n'obubuga bwakyo bwonna. Ne batta abaayo bonna, obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola ku Debiri ne kabaka wamu nga bwe yakola ku Heburooni ne Libuna ne bakabaka baamu.
40
Yoswa n'awangula ensi eyo yonna, ekitundu eky'ensozi, n'ekitundu eky'omu bukiikaddyo, n'eky'ensenyi, n'eky'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna. N'atta abaayo bonna, nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, n'atatalizaawo n'omu.
41
Yoswa n'abawangula okuva e Kadesibaruneya, okutuuka e Gaaza, n'ensi yonna ey'e Goseni, okutuukira ddala e Gibiyoni.
42
Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli yalwanirira Yisirayeli
43
Awo Yoswa n'akomawo n'eggye lyonna mu lusiisira e Gilugaali.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24