bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 18
Joshua 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Abayisirayeli bwe baamala okuwangula ensi ye Kanaani, ekibiina kyabwe kyonna ne kikuŋŋaanira e Siilo, ne basimba Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
2
Mu Bayisirayeli waali wakyasigaddewo ebika musanvu ebitannafuna mugabo gwabyo ogw'ettaka.
3
Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Muligayaala kutuusa ddi, ne mutagenda kwefunira nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa mmwe?
4
Mwerondemu abasajja basatu mu buli kika, mbatume bagende balambule ensi eyo yonna, bapime nga bw'eyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi.
5
Ensi eyo ejja kugabanyizibwamu ebitundu musanvu. Yuda ajja kusigala mu kitundu kye, ku ludda olw'ebukiikaddyo, n'ab'ennyumba ya Yosefu mu kitundu kyabwe, ku ludda olw'ebukiikakkono.
6
Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe.
7
Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Rewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manasse baamala dda okuweebwa ebitundu ebyabwe ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa.”
8
Awo abasajja ne basituka ne bagenda, okupima ensi eyo, nga Yoswa amaze okubalagira nti: “Mugende mulambule ensi eyo yonna, muwandiike ebinnyonnyola nga bw'efaanana, mukomewo gye ndi, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siilo.”
9
Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siilo.
10
Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siilo. Buli kika kya Yisirayeli ekyali kitannagabana, n'akiwa omugabo ogwakyo ogw'ettaka.
11
Ekitundu ekyaweebwa ennyumba z'ab'omu Kika kya Benyamiini, kye kyasooka okulondebwa mu kalulu. Ekitundu kyabwe ne kiba wakati w'Ekika kya Yuda n'Ekika kya Yosefu.
12
Mu bukiikakkono, ensalo yaabwe yatandikira ku Yorudaani, n'eyambuka ku njegoyego za Yeriko mu bukiikakkono, n'eyambuka mu nsi ey'ensozi ku ludda olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku ddungu ly'e Betaaveni.
13
Okuva awo ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, n'eyita kumpi ne Luuzi, era ekiyitibwa Beteli, n'ekka okutuuka ku Atarooti Addari, kumpi n'olusozi oluli mu bukiikaddyo obwa Betooroni, ekiri emmanga.
14
Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, n'eva mu bukiikaddyo, n'edda ebugwanjuba bw'olusozi Betooroni, n'eraga ku Kiriyati Baali oba Kiriyati Yeyariimu, ekibuga eky'ab'Ekika kya Yuda. Eyo ye yali ensalo y'Ababenyamiini mu bugwanjuba.
15
Ensalo mu bukiikaddyo, yatandikira ku njegoyego za Kiriyati Yeyariimu, n'eraga ebugwanjuba ku nzizi z'e Nafutowa.
16
Awo n'ekka mu Kiwonvu kya Hinnomu mu bukiikaddyo obw'ensozi z'Abayebusi, n'ekka ku Enurogeli.
17
N'ewetamu n'eyolekera mu bukiikakkono ku Ensemesi, n'etuuka e Gelilooti, ekitunuulidde ekkubo eryambuka e Adummimu, n'eryoka etuuka ku jjinja lya Bokani, mutabani wa Rewubeeni,
18
n'eyita ku ludda olw'ebukiikakkono ku nsozi ezitunuulidde Ekiwonvu kya Yorudaani, n'ekka mu kiwonvu ekyo,
19
n'eyita ku nsozi z'e Beti Hogula ku ludda olw'ebukiikaddyo.
20
Omugga Yorudaani gwe gwali ensalo ey'ebuvanjuba ey'ekitundu ekyagabanibwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Benyamiini, okuba ekyabwe.
21
Ebibuga by'ab'ennyumba z'ab'Ekika kya Benyamiini byali Yeriko, ne Beti Hogula, ne Emeki Kezizi,
22
ne Beti Araba, ne Zemarayimu, ne Beteli,
23
ne Avvimu, ne Para, ne Ofura,
24
ne Kefarammoni, ne Ofuni, ne Geeba: ebibuga kkumi na bibiri wamu n'ebyalo ebibyetoolodde.
25
Era waaliwo Gibiyoni, ne Raama, ne Beeroti,
26
ne Mizupa, ne Kefira, ne Moza,
27
ne Rekemu, ne Yirupeeli, ne Tarala,
28
ne Zela, ne Elefu, ne Yebusi oba Yerusaalemu, ne Gibeya, ne Kiriyati Yeyariimu, ebibuga kkumi na bina, wamu n'ebyalo ebibyetoolodde. Ekyo kye kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Benyamiini kye baafuna okuba ekyabwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24