bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 14
Joshua 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baagabana mu nsi y'e Kanaani, Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni n'abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli bye baabagabira.
2
Ebitundu ebyaweebwa ebika omwenda n'ekitundu, byagabibwa nga bakuba kalulu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
3
Ekitundu eky'ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa yali amaze okukiwa ebika ebibiri n'ekitundu. Naye Abaleevi tebaaweebwa ttaka libe lyabwe.
4
Bazzukulu ba Yosefu baavaamu ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Bo Abaleevi tebaaweebwa mugabo gwa ttaka, wabula ebibuga eby'okubeerangamu. Baaweebwa n'ebyalo ebyetoolodde ebibuga ebyo, bakuumirengamu amagana gaabwe n'ebintu byabwe ebirala.
5
Abayisirayeli baagabana ensi eyo nga Mukama bwe yalagira Musa.
6
Awo abamu ku b'omu Kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa mu Gilugaali. Kalebu, mutabani wa Yefunne, Omukenizi n'agamba Yoswa nti: “Omanyi Mukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda mu Kadesibaruneya, ekikwata ku nze naawe.
7
Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesibaruneya okuketta ensi eno, nali mpeza emyaka amakumi ana egy'obukulu. Namuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe nabiraba.
8
Naye bannange be nagenda nabo, ne baleetera abantu baffe okutya. Naye nze nakolera ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala.
9
Musa n'andayirira ku lunaku olwo nti: ‘Nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala, ekitundu ky'ensi ky'olinnyeemu ekigere kyo, kiriba kikyo ggwe n'abaana bo ennaku zonna.’
10
Era kaakano, laba emyaka giweze amakumi ana mu etaano, Mukama bukya agamba Musa ebigambo ebyo. Olwo Yisirayeli yali ekyatambula mu ddungu. Era Mukama ankuumye nga ndi mulamu nga bwe yasuubiza. Laba, ndi wa myaka kinaana mu etaano,
11
era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako. Nkyalina amaanyi okulwana mu lutalo oba okukola ekirala kyonna.
12
Kale kaakano mpa ekitundu kino eky'ensozi, Mukama kye yayogerako ku lunaku luli, kubanga ku lunaku olwo wawulira nga Abaanaki be baaliyo mu bibuga ebinene ebyaliko ebigo. Osanga Mukama anaabeera nange ne mbagobamu, nga Mukama bwe yagamba.”
13
Yoswa n'asabira omukisa Kalebu mutabani wa Yefunne, n'amuwa ekibuga Heburooni okuba ekikye.
14
Okuva olwo Heburooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizi n'okutuusa kati, kubanga Kalebu yakolera ddala, Mukama, Katonda wa Yisirayeli ky'ayagala.
15
Edda Heburooni kyayitibwanga Kibuga kya Aruba. Aruba oyo ye yali asinga obukulu mu Baanaki. Awo ensi n'ewummula entalo.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24