bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 13
Joshua 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Yoswa yali akaddiye nnyo. Mukama n'amugamba nti: “Okaddiye nnyo, naye wakyaliwo ebitundu by'ensi bingi ebitannawangulwa,
2
bye bino: ekitundu kyonna eky'Abafilistiya n'eky'Abagesuri:
3
okuva ku Mugga Sihori, ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo ne Sihori mu bukiikakkono, ekibalibwa okuba eky'Abakanaani era ekifugibwa abakungu abataano Abafilistiya, ababeera e Gaaza, ne Asudoodi ne Asukelooni, ne Gaati ne Ekurooni, n'ekitundu kyonna eky'Abavvimu,
4
mu bukiikaddyo. Wakyaliwo n'ensi yonna ey'Abakanaani, ne Meyara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki ku nsalo n'Abaamori;
5
n'ensi y'Abagebali, ne Lebanooni yonna ebuvanjuba, okuva e Baalugaadi, wansi w'Olusozi Herumooni, okutuuka ku Muwaatwa gw'e Hamati.
6
Abantu bonna ab'omu nsi ey'ensozi, okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefaati Mayimu, n'Abasidoni bonna, nja kubagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli balaba, naye ggwe ogiwe Abayisirayeli ebe yaabwe, nga bwe nakulagira.
7
Kale kaakano ensi eno gigabanyizeemu ebika omwenda, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ekika kya Manasse, ebe yaabyo.”
8
Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani.
9
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba, okutuuka ku nsalo ne Ammoni,
10
ne kitwaliramu n'ebibuga byonna ebyali ebya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni.
11
Era kyazingirangamu ne Gileyaadi, n'ebitundu by'e Gesuri ne Maaka, n'olusozi lwonna Herumooni, ne Basani yonna, okutuuka ku Saleka.
12
Kyalimu obwakabaka bwonna obwa Ogi eyasembayo mu Bareefa, eyafugiranga mu Asitarooti, ne mu Edereyi eby'omu Besani. Abo Musa yabawangula n'abasaanyaawo.
13
Naye Abayisirayeli tebaagobamu Bagesuri, wadde Abamaakiti. Bakyabeera mu Yisirayeli n'okutuusa kati.
14
Ekika kya Leevi kye kyokka Musa ky'ataawa ttaka libe eryakyo. Omugabo ogwabwe baali ba kugufunanga ku bitambiro ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Musa.
15
Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Rewubeeni libe eryabwe.
16
Ekitundu kyabwe kyava ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba.
17
Era kyatwaliramu Hesubooni, n'ebibuga byonna eby'omu museetwe: Diboni, Bamooti Baali, Beti Baalimooni,
18
Yakazi, Kedemooti, Mefaati,
19
Kiriyatayiimu, Sibuma, Zeretisakari, ku lusozi olw'omu kiwonvu,
20
Betipeyori, obuserengeto bw'Olusozi Pisuga, era ne Beti Yesimooti.
21
Kyalimu n'ebibuga byonna eby'omu museetwe, n'obwakabaka bwonna obwa Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Musa yamuwangula awamu n'abafuzi ba Midiyaani: Evi, ne Rekemu, ne Zuuri, ne Huuri, ne Reba, abaali abakungu ba Kabaka Sihoni mu nsi eyo.
22
Mu abo Abayisirayeli be batta, mwe mwali n'omulaguzi Balamu, mutabani wa Bewori.
23
Omugga Yorudaani ye yali ensalo y'Ekika kya Rewubeeni ebugwanjuba. Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'Ekika kya Rewubeeni okuba ebyabwe.
24
Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Gaadi libe eryabwe.
25
Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ensi y'Abammoni, okutuuka ku Aroweri, ebugwanjuba bwa Rabba.
26
Ekitundu kyabwe ne kiva ku Hesubooni okutuuka ku Lamati Mizupa ne Betonimu, n'okuva ku Mahanayimu okutuuka ku nsalo ne Lodebari.
27
Mu Kiwonvu kya Yorudaani, Abagaadi baatwala Beti Aramu, ne Betunimura, ne Sukkoti ne Safoni, n'ekitundu ekisigaddewo eky'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni. Ensalo yaabwe mu bugwanjuba gwe Mugga Yorudaani, okwambukira ddala okutuuka ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya.
28
Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'omu Kika kya Gaadi okuba ebyabwe.
29
Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.
30
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Mahanayimu ne kitwaliramu Basani yonna, eyali obwakabaka bwa Ogi kabaka wa Basani, n'ebyalo byonna enkaaga ebya Yayiri ebiri mu Basani.
31
Kyazingiramu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi awamu ne Asitarooti ne Edereyi, ebibuga ebikulu eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebyo byonna byaweebwa ekimu ekyokubiri eky'ab'ennyumba z'abasibuka mu Makiri, omwana wa Manasse.
32
Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yorudaani, mu nsenyi za Mowaabu.
33
Naye ab'Ekika kya Leevi, Musa teyabawa ttaka libe lyabwe. Yabagamba nti omugabo ogwabwe banaagufunanga ku biweebwayo eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24