bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 7
Joshua 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Naye Abayisirayeli ne batakuuma kiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikiriza. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi era owa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyo, Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli.
2
Yoswa n'atuma abantu okuva e Yeriko okugenda e Ayi, ekibuga ekiri ebuvanjuba bwa Beteli, okumpi ne Betaveni, n'abagamba bagende bakette ekitundu ekyo. Ne bagenda ne baketta Ayi.
3
Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kugenda, naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu bambukeyo balumbe Ayi. Tosindikayo ggye lyonna kulwana, kubanga abaayo batono.”
4
Awo Abayisirayeli ng'enkumi ssatu ne bambukayo, naye ab'e Ayi ne babazzaayo emabega,
5
ne babagoba okubaggya ku mulyango gw'ekibuga okubatuusa ku birombe by'amayinja, ne babattamu abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga ku kaserengeto. Abayisirayeli ne baggwaamu amaanyi, ne batya.
6
Yoswa n'abakulembeze mu Bayisirayeli ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beevuunika ku ttaka mu maaso g'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, okutuusa akawungeezi, nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe.
7
Yoswa n'agamba nti: “Kino nga kitalo, ayi Mukama Katonda! Lwaki wasomosa abantu bano Omugga Yorudaani? Wayagala kutuwaayo eri Abaamori batuzingize? Kale nno singa twamatira ne tusigala ku ludda luli olwa Yorudaani!
8
Ayi Mukama, nnaayogera ki ng'Abayisirayeli bamaze okudduka abalabe baabwe?
9
Kubanga Abakanaani n'abalala bonna abali mu nsi eno, bajja kuwulira kino batuzingize batusaanyeewo. Kale olwo olikola otya okukuuma ekitiibwa kyo?”
10
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Situka! Lwaki ogudde ku ttaka okwevuunika bw'otyo?
11
Abayisirayeli boonoonye. Bamenye endagaano yange gye nabalagira okukuuma. Batutte ku bintu ebiteekwa okuzikirizibwa. Babibbye ne babikukusa, ne babiteeka mu bintu byabwe.
12
Ekyo kye kiremesezza Abayisirayeli okwaŋŋanga abalabe baabwe. Badduse abalabe baabwe, kubanga bo bennyini Abayisirayeli bafuuse ba kuzikirizibwa. Sijja kwongera kubeera nammwe, wabula nga muzikirizza ebintu ebyo bye mwagaanibwa okutwala.
13
Situka, otukuze abantu. Bagambe beetukuze, okwetegekera olunaku lw'enkya, kubanga nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ‘Ggwe Yisirayeli, mu bibyo otereseemu ebintu bye nakulagira okuzikiriza. Tojja kusobola kwaŋŋanga balabe bo nga tonnabyeggyako.’
14
Kale bategeeze nti enkya banaaleetebwa nga bali mu bika byabwe. Ekika kye nnaalondamu, kinaavaayo, ab'ennyumba emu nga baddirirwa ab'ennyumba endala. N'ennyumba gye nnaalondamu, buli muntu anaavaayo ng'addirirwa munne.
15
Oyo anaalondebwamu ng'alina ekiteekwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro, ye n'ebibye byonna by'alina, kubanga amenye endagaano yange, era akoze eky'obuswavu mu Yisirayeli.”
16
Enkeera, Yoswa yazuukuka mu makya, n'aleeta Abayisirayeli nga bali mu bika byabwe. Ekika kya Yuda ne kirondebwamu.
17
N'aleeta ab'Ekika kya Yuda, n'alondamu ab'ennyumba ya Zeera, ne bavaayo buli muntu kinnoomu, Zabudi n'alondebwamu.
18
Oyo n'aleeta ab'omu nnyumba ye kinnoomu. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi, era muzzukulu wa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, n'alondebwamu.
19
Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, yogera amazima wano mu maaso ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oyatule. Kaakano mbuulira ky'okoze, tokinkisa.”
20
Akani n'addamu nti: “Mazima nayonoonye ne nnyiiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era kino kye nakoze:
21
bwe nalabye mu munyago ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaari, ne kilo nga bbiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekiweza obuzito nga bwa kimu kyakubiri ekya kilo, ne mbiyaayaanira ne mbitwala. Biziikiddwa mu weema yange, nga ffeeza ye ali wansi.”
22
Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga nga ddala ebintu gyebiri, nga ffeeza ye ali wansi.
23
Ne babiggyayo mu weema, ne babireetera Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24
Yoswa wamu n'Abayisirayeli bonna, ne bakwata Akani, mutabani wa Zeera, ne ffeeza n'ebyambalo, n'ekitole kya zaabu, ne batabani be ne bawala be, n'endogoyi ze n'endiga ze, ne weema ye, n'ebibye ebirala byonna, ne babatwala mu Kiwonvu Akori.
25
Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde emitawaana? Kaakano Mukama emitawaana agituuse ku ggwe!” Abantu bonna ne bakuba Akani amayinja, n'afa. Era ne bakuba ab'omu nnyumba ye amayinja, ne bamwokera wamu nabo omuliro era n'ebintu bye byonna.
26
Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano. Ekiwonvu ekyo kyekyava kiyitibwa Ekiwonvu Akori. Awo Mukama n'aggweebwako obusungu bwe obukambwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24