bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 4
Joshua 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Eggwanga lyonna bwe lyamala okusomoka Yorudaani, Mukama n'agamba Yoswa nti:
2
“Mulonde mu bantu abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika,
3
era mu balagire balonde amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, mu kifo wennyini bakabona mwe baayimiridde, bagatwale bagateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
4
Awo Yoswa n'ayita abasajja ekkumi n'ababiri be yalonda mu Bayisirayeli, omu omu okuva mu buli kika,
5
n'abagamba nti: “Mutambule mutuuke wakati mu Yorudaani awali Essanduuko ya Mukama, Katonda wammwe. Buli omu ku mmwe asitule ejjinja, alisse ku kibegabega kye, buli kika kya Yisirayeli ejjinja limu.
6
Amayinja ago ganajjukizanga abantu, ekyo Mukama ky'akoze. Mu biseera ebigenda okujja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja ago kye gategeeza,
7
munaabagambanga nti amazzi ga Yorudaani gavaawo ne gaviira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'eyita mu Yorudaani. Amayinja gano ganajjukizanga bulijjo Abayisirayeli ebyo ebibaddewo.”
8
Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne balonda amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, limu limu erya buli kika kya Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ne bagatwala mu kifo mwe baasula, ne bagateeka eyo.
9
Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu Yorudaani wakati, mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey'Endagaano mwe baayimirira. Amayinja ago gakyaliwo ne kaakano.
10
Bakabona abaasitula Essanduuko baayimirira mu Yorudaani wakati, okutuusa byonna Mukama bye yalagira Yoswa okubuulira abantu lwe byatuukirira, nga Musa bwe yali alagidde Yoswa. Abantu ne banguwako okusomoka.
11
Awo abantu bonna bwe baamala okusomoka, bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano ne bakulemberamu abantu.
12
Ab'omu Kika kya Rewubeeni n'ab'omu kya Gaadi, n'ab'ekimu ekyokubiri eky'ab'omu Kika kya Manasse ne bakulemberamu Abayisirayeli abalala, nga balina ebyokulwanyisa, nga Musa bwe yali abagambye.
13
Abantu ng'emitwalo ena abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko.
14
Mukama bye yakola ku lunaku olwo ne bireetera Abayisirayeli okumanya nga Yoswa muntu mukulu. Ne bamussangamu ekitiibwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, nga bwe baakissangamu Musa.
15
Awo Mukama n'agamba Yoswa
16
alagire bakabona abasitudde Essanduuko, bambuke bave mu Yorudaani.
17
Awo Yoswa n'abalagira nti: “Mwambuke, muve mu Yorudaani.”
18
Awo bakabona abaasitula Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe baayambuka ne bava mu Yorudaani, ne balinnya ku lukalu, amazzi gaagwo ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo, ng'edda.
19
Abantu baasomoka Yorudaani ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'olubereberye, ne basula e Gilugaali mu buvanjuba bwa Yeriko.
20
Eyo Yoswa gye yasimba amayinja ekkumi n'abiri ge baggya mu Yorudaani.
21
N'agamba Abayisirayeli nti: “Mu biseera ebijja abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja gano kye gategeeza,
22
munaabagambanga nti: ‘Abayisirayeli baasomoka Omugga Yorudaani guno nga mukalu.’
23
Munaabategeezanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yakaliza amazzi ga Yorudaani, okutuusa lwe mwamala okusomoka, nga bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu nga mugisomoka.
24
Olwa kino, ab'amawanga gonna ku nsi balimanya obuyinza bwa Mukama nga bwe buli obw'amaanyi, era mulissaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24