bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 2
Joshua 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'atuma abakessi babiri okuva mu Sittimu, n'abagamba nti: “Mugende mwetegereze ensi y'e Kanaani, naddala Ekibuga Yeriko.” Ne bagenda. Bwe baatuuka mu kibuga, ne bayingira mu nnyumba ya malaaya, erinnya lye Rahabu, ne basulayo.
2
Kabaka wa Yeriko n'awulira ng'abamu ku Bayisirayeli bazze ekiro okuketta ensi.
3
N'atumira Rahabu nti: “Abantu abazze ne bayingira mu nnyumba yo, bazze kuketta nsi yaffe yonna. Baggyeeyo.”
4
Kyokka omukazi n'abatwala bombi n'abakweka, n'agamba nti: “Weewaawo abantu bazze ewange. Naye nabadde simanyi gye bavudde.
5
Awo obudde bwe bwabadde bukutte nga tebannaggalawo wankaaki wa kibuga, ne bagenda. Ssaategedde gye balaze. Naye singa mubawondera mangu, mujja kubakwata.”
6
Naye yali abalinnyisizza mu kasolya n'abakweka mu miti gy'obugoogwa gye yali atereezezzaayo obulungi.
7
Abaabawondera bwe baamala okuva mu kibuga, wankaaki waakyo n'aggalwawo. Ne bagenda nga banoonya Abayisirayeli abakessi, okutuuka awasomokerwa Yorudaani.
8
Abakessi nga tebanneebaka, Rahabu n'alinnya gye bali mu kasolya.
9
N'abagamba nti: “Mmanyi nga Mukama, ensi eno agibawadde. Abagirimu bonna bakwatiddwa entiisa ku lwammwe,
10
kubanga twawulira Mukama nga bwe yakaliza mu maaso gammwe Ennyanja Emmyufu bwe mwava mu Misiri. Era twawulira kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, Sihoni ne Ogi, abaali emitala wa Yorudaani, be mwazikiririza ddala.
11
Bwe twakiwulira, ne tutya, era ffenna mwatumalamu dda amaanyi, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda ali waggulu mu ggulu, ne wansi ku nsi.
12
Kale kaakano mundayirire Mukama oyo, ng'amaka ga kitange munaagakwatirwa ekisa nga nange bwe nkibakwatiddwa mmwe, era mumpe akabonero akanankakasa obwesigwa bwammwe.
13
Munkakase nga munaawonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange n'ebyabwe byonna, ne mutatuleka kuttibwa.”
14
Abasajja ne bagamba nti: “Tulikuuma obulamu bwammwe nammwe bwe munaakuuma obwaffe. Bwe mutaayogere bino bye tubadde tukola, Mukama bw'alituwa ensi eno, naffe tulikulaga ekisa n'amazima.”
15
Rahabu yasulanga ku bbugwe wa kibuga, kubanga ennyumba ye kwe yazimbirwa. N'akozesa omuguwa n'abayamba okukka ng'abayisa mu ddirisa.
16
N'abagamba nti: “Mulage mu nsozi, ababawondera baleme kubasanga. Mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa lwe banaakomawo. Oluvannyuma muliyinza okugenda.”
17
Abasajja ne bamugamba nti: “Tetulimenya kirayiro kino ky'otulayizza.
18
Olikola bw'oti: bwe tulirumba ensi yammwe eno, olisiba akaguwa kano akamyufu ku ddirisa ly'otuyisizzaamu. Era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko ne baganda bo, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo bonna.
19
Bwe walibaawo afuluma ennyumba yo n'adda mu luguudo, ye aliba yeereetedde yekka okuttibwa, si ffe tulivunaanibwa. Naye buli alibeera naawe mu nnyumba, n'atuukibwako akabi, oyo gwe tulivunaanibwa.
20
Wabula bw'olibuulirako omuntu yenna ku bino bye tukola, tuliba tetukyasibibwa kirayiro kyo kino ky'otulayizza.”
21
Rahabu n'akkiriza, n'abasiibula ne bagenda, n'asiba akaguwa akamyufu ku ddirisa.
22
Abakessi ne bagenda ne beekweka mu nsozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabawondera lwe baakomawo mu Yeriko nga bamaze okubanoonya wonna ne batabalaba.
23
Awo abakessi bombi ne bavaayo mu nsozi ne basomoka Yorudaani, ne baddayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako.
24
Awo ne bamugamba nti: “Ddala Mukama ensi eno yonna agituwadde. Abantu bonna abagirimu batutidde.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24