bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 1
Leviticus 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
1
Mukama n'ayita Musa, n'ayogera naye mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agamba nti:
2
“Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti bwe wabangawo mu mmwe awaayo ekitambiro eri Mukama, anaakiwangayo ng'aggya mu nte ze, oba mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze.
3
Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu nte ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo. Anaagiweerangayo mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'ekkirizibwa okuba ekitambiro eky'okuddaabiriza okuggyawo ebibi bye.
5
Anattiranga ente eyo mu maaso ga Mukama, bakabona ab'olulyo lwa Arooni ne batwala omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'alutaari eri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
6
Awo anaabaaganga ensolo eyo, n'agisalaasalamu ebitundu.
7
Bakabona banaakoleezanga omuliro ku alutaari, ne bagutindirako enku.
8
Banaateekanga ku muliro ogwo ebifi by'ennyama, n'omutwe, era n'amasavu. Ebifi by'ennyama n'omutwe era n'amasavu banaabiteekanga ku nku ezo eziri ku muliro, ku alutaari.
9
Omuntu oyo anaayozanga n'amazzi ebyenda byayo, n'ebirenge byayo n'amagulu gaayo, kabona n'ayokera byonna ku alutaari, ne biba ekiweebwayo ekyokebwa. Evvumbe lyakyo eddungi, lisanyusa Mukama.
10
“Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo.
11
Anaagittiranga ku ludda lw'alutaari olw'ebukiikakkono, bakabona ne bamansira omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'alutaari.
12
Awo anaagisalaasalangamu ebifi, kabona n'abiteeka ku muliro ku alutaari, awamu n'omutwe era n'amasavu.
13
Ebyenda n'amagulu anaabyozanga n'amazzi, kabona n'awaayo ekitambiro eri Mukama, era kyonna n'akyokera ku alutaari. Evvumbe lyakyo eddungi, lisanyusa Mukama.
14
“Era bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa eky'ekinyonyi, anaawangayo enjiibwa oba ejjiba etto.
15
Kabona anaaleetanga akanyonyi ako ku alutaari, n'akanyoola obulago, n'akakutulako omutwe, n'agwokera ku alutaari, omusaayi gwako ne gutonnyolokokera ku mabbali gaayo.
16
Anaakaggyangamu ekisakiro kyako n'ebikirimu, n'abisuula ku mabbali g'alutaari, ku ludda olw'ebuvanjuba, awateekebwa evvu.
17
Anaakakwatanga ebiwaawaatiro, n'akayuzaamu, naye n'atakakutulamu wabiri, n'akookera ku alutaari ku nku eziri ku muliro. Evvumbe lyako eddungi, lisanyusa Mukama.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27