bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 11
Leviticus 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni
2
bategeeze Abayisirayeli nti: “Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi.
3
Buli nsolo erina ebinuulo ebyawulemu era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga.
4
Naye temuulyenga ŋŋamiya, n'omusu, n'akamyu. Munaabibaliranga mu bitali birongoofu, kubanga newaakubadde bizza obwenkulumu, naye tebirina binuulo byawulemu.
7
Era temuulyenga mbizzi. Munaagibaliranga mu bitali birongofu, kubanga newaakubadde erina ebinuulo ebyawulemu, naye tezza bwenkulumu.
8
Temuulyenga ku nsolo ezo, wadde okuzikoonangako nga zifudde. Si nnongoofu.
9
“Munaayinzanga okulya buli kyannyanja ekirina amaggwa n'amagalagamba.
10
Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
11
Ebyo munaabizizanga. Temuubiryengako, wadde okubikoonangako nga bifudde.
12
Buli kibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
13
“Mu binyonyi bye munaazizanga era bye mutaalyenga, mwe muli ennunda, n'empungu, ne makwanzi,
14
ne kamunye, n'eddiirawamu n'ebirala ebiri mu bika byalyo;
15
ne nnamuŋŋoona owa buli kika;
16
ne mmaaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'ebirala ebiri mu kika kyayo,
17
n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkukufu,
18
n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega;
19
ne kasida, ne mpaabaana n'ebirala ebiri mu kika kye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20
“Munaazizanga ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebitambuza amagulu ana,
21
okuggyako ebyo ebibuukabuuka ku magulu gaabyo ku ttaka.
22
Munaayinzanga okulya enzige n'enseenene, n'ejjanzi, n'ebirala eby'ebika ebyo.
23
Naye ebiwuka byonna ebirala ebirina ebiwaawaatiro, n'amagulu ana, munaabizizanga.
24
“Ebisolo bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu. Buli anaakoonanga ku mulambo gwabyo, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi,
25
na buli anaasitulanga omulambo gwabyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi:
26
buli nsolo erina ebinuulo naye nga si byawulemu era nga tezza bwenkulumu, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagikoonangako ng'efudde, taabenga mulongoofu.
27
Era buli nsolo ey'amagulu ana erina amaala, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagyekoonangako, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
Oyo anaasitulanga omulambo gw'ensolo eyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ensolo ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu.
29
“Mu bitambulira ku ttaka nga byewalula, na bino munaabibaliranga mu bitali birongoofu: eggunju, n'emmese, n'ekkonkome eddene n'ebirala ebiri mu kika kyalyo,
30
n'ekinya, enswaswa, n'omunya, n'ekkonkome, ne nnawolovu.
31
Ebyo munaabibaliranga mu bitali birongoofu mu byonna ebyewalula. Buli anaabikoonangako nga bifudde, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32
Era buli kintu ekinagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, ka kibe kya muti, oba ka kibe lugoye, oba ddiba, oba nsawo, oba ekirala kyonna ekikozesebwa, tekiibenga kirongoofu. Kinaateekwanga okunnyikibwa mu mazzi, naye ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi, ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33
Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo kinaayasibwanga.
34
Buli kyakulya ekyandisobodde okuliika, naye ne kiyiibwako amazzi agavudde mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu, era buli kyakunywa mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu.
35
Buli kintu ekinaagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, tekiibenga kirongoofu: oba kyoto, oba masiga ga ntamu, binaamenyebwanga. Si birongoofu, era munaabizizanga.
36
Naye oluzzi oba ttanka erimu amazzi, binaabanga birongoofu, newaakubadde ng'ekirala kyonna ekikoona ku bintu ebyo nga bifudde tekiba kirongoofu.
37
Singa ekimu ku byo ekifudde kigwa ku nsigo egenda okusigibwa, ensigo esigala nnongoofu.
38
Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku byo ekifudde ne kigwa ku yo, ensigo eyo temuugiyitenga nnongoofu.
39
“Singa ensolo eyinza okuliibwa efa, buli agikoonako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40
Ate oyo anaagiryangako, anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaagisitulanga ng'efudde, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41
“Munaazizanga obusolo obutono obutambula ku nsi, temuubulyenga,
42
oba bwewalula, oba butambuza amagulu ana, oba bulina amagulu mangi.
43
Temweyonoonanga na byewalula ebyo, era temwefuulanga batali balongoofu olw'ebitonde ebyo.
44
Nze Mukama Katonda wammwe. Mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu. Temwejaajaamyanga olw'ekintu n'ekimu ekyekululira ku ttaka.
45
Nze Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbenga Katonda wammwe. Kale mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu.
46
“Lino lye tteeka erifa ku nsolo ne ku binyonyi, ne ku buli kiramu ekibeera mu mazzi, ne ku buli kiramu ekitambula ku ttaka,
47
ery'okwawula ebirongoofu ku bitali birongoofu, n'okwawula ebiramu ebikkirizibwa okuliibwa, ku bitakkirizibwa.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27