bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 21
Leviticus 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Arooni, obagambe nti tewaabengawo n'omu ku bo aneefuulanga atali mulongoofu nga yeetaba mu mikolo egibaawo mu kufiirwa ab'eŋŋanda ze,
2
okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we,
3
oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye.
4
Teyeefuulenga atali mulongoofu olw'abafudde ku buko.
5
“Bakabona tebaamwengako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okukomola ku birevu byabwe, era tebaasalenga misale ku mibiri gyabwe okulaga nti banakuwadde.
6
Banaabeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebaavumaganyenga linnya lya Katonda waabwe, kubanga bawaayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, by'ebyokulya ebya Katonda waabwe. Kyebanaavanga baba abatukuvu.
7
“Kabona taawasenga mukazi eyakolako obwamalaaya, oba omukazi atali mbeerera, wadde eyagobebwa bba, kubanga kabona yayawulirwa Katonda we.
8
Kale munaamwawuliranga Katonda, kubanga awaayo eri Katonda wammwe ekitone eky'ebyokulya. Munaamubalanga nga mutukuvu, kubanga nze Mukama abatukuza mmwe, ndi mutukuvu.
9
Era muwala wa kabona bwe yeeyonoona nga yeefuula malaaya, aswaza kitaawe. Anaayokebwanga omuliro n'afa.
10
“Ssaabakabona yafukibwako omuzigo ku mutwe gwe, n'atukuzibwa okwambalanga ebyambalo eby'obwakabona. N'olwekyo taalekenga nviiri ze nga si nsanirire, era taayuzenga byambalo bye, okulaga nti anakuwadde.
11
Teyeefuulenga atali mulongoofu, wadde okujaajaamya Ekifo kyange Ekitukuvu, ng'akivaamu n'ayingira ennyumba erimu omulambo, ne bwe guba ogwa kitaawe oba ogwa nnyina, kubanga yanjawulirwa nze Katonda we, ng'afukibwako omuzigo omutukuvu.
13
Anaawasanga omukazi akyali embeerera,
14
sso si nnamwandu, oba omukazi eyaliko malaaya, wadde eyagobwa bba. Omukazi embeerera ow'omu bantu be, gw'anaawasanga,
15
aleme kuvumaganya baana be mu bantu be, kubanga nze Mukama amutukuza.”
16
Mukama n'agamba Musa
17
ategeeze Arooni nti: “Buli wa mu zzadde lyo mu mirembe gyonna anaabangako akamogo, taasemberenga okuwaayo ekitone eky'ebyokulya ekya Katonda we.
18
Buli aliko akamogo konna, taasemberenga kuweereza: muzibe, oba awenyera oba eyalemala, oba aliko awakyamu,
19
wadde eyamenyeka okugulu oba omukono;
20
ow'ebbango, nnakalanga, oba aliko akamogo ku liiso lye, oba alina endwadde ey'olususu, oba omulaawe.
21
Tewaabengawo n'omu mu zadde lya Arooni kabona, aliko kamogo anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa, n'ekitone eky'ebyokulya.
22
Ow'engeri eyo, anaalyanga ku kitone ekya Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, ne ku birala ebitukuvu.
23
Kyokka olw'okuba ng'aliko akamogo, taayingirenga awali olutimbe olutukuvu, era taasembererenga alutaari, alemenga kuvumaganya ebitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.”
24
Awo Musa n'ategeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna bw'atyo.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27