bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 20
Leviticus 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe wanaabangawo Omuyisirayeli oba omugwira abeera mu mmwe awaayo ku baana be eri lubaale Moleki, ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja n'afa.
3
Era nange ndyefuulira omuntu oyo ne mmuboola, ne ssongera kumubalira mu bantu bange, kubanga awaddeyo ku baana be eri Moleki, n'ayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.
4
Naye ekibiina ky'abantu bwe kitaafengayo ku ky'akoze, ne kitamutta,
5
Nze nzennyini ndikyukira omuntu oyo n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'abo bonna abamwegattako mu butaba beesigwa gye ndi, ne basinza Moleki. Siryongera kubabalira mu bantu bange.
6
“Era omuntu bw'anaagendanga okwebuuza ku basamize, nnaamwefuuliranga, ne ssongera kumubalira mu bantu bange.
7
Kale mwetukuze, mubenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8
Mukuumenga amateeka gange, kubanga nze Mukama abafuula abatukuvu.
9
“Buli akolimira kitaawe oba nnyina, anattibwanga. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.
10
“Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga.
11
N'omusajja eyeebaka n'omu ku baka kitaawe, aswaza kitaawe. Bombi, omusajja oyo n'omukazi banattibwanga. Be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
12
Omusajja bw'aneebakanga ne muka mwana we, bombi banattibwanga. Banaabanga bakoze kya kivve, nga be beereetedde bokka okuttibwa.
13
Era omusajja bw'aneebakanga ne musajja munne, nga bwe yandyebase n'omukazi, baba bakoze eky'omuzizo. Bombi banattibwanga, nga be beereetedde bokka okuttibwa.
14
Omusajja bw'awasanga omukazi ne nnyina w'omukazi oyo, ekyo kya kivve. Abasatu abo banaayokebwanga omuliro ne bafa. Era temukkirizenga ekibi ng'ekyo okubeera mu mmwe.
15
Omusajja bw'aneebakanga n'ensolo, anattibwanga era ensolo eyo nayo enettibwanga.
16
Omukazi anaasembereranga ensolo ne yeebaka nayo anattibwanga, era ensolo eyo nayo enettibwanga, nga ye, nayo, be beereetedde bokka okuttibwa.
17
“Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe oba owa nnyina, banaabanga bakoze kya buwemu. Banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe. Omusajja oyo anaabanga yeebase ne mwannyina, era anaavunaanibwanga olw'ekibi kye.
18
Omusajja bw'aneebakanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.
19
“Teweebakenga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.
20
Omusajja bw'aneebakanga ne muka kitaawe omuto, oba ne muka kojjaawe, anaabanga aswazizza kitaawe omuto oba kojjaawe, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe. Balifa tebafunye baana.
21
Era omusajja bw'anaawasanga muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we. Tebaliba na baana.
22
“Mukuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okubayingizaamu okubeerangamu ereme kubagaana.
23
Temuugobererenga mpisa za bantu abo be ngobamu okuleetamu mmwe. Kubanga baakolanga ebyo byonna, kyennava mbakyawa.
24
Naye mmwe nabasuubiza okubawa ensi eno engagga era engimu, era ndigibawa n'eba yammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala.
25
Kale mwawulenga ensolo n'ebinyonyi ebirongoofu n'ebitali birongoofu. Temwejaajaamyenga nga mulya ensolo n'ebinyonyi, wadde ekintu ekirala kyonna ku nsi, ebitali birongoofu.
26
Munaabeeranga batukuvu, era nga muli bange nzekka, kubanga nabaawula mu mawanga amalala, mulyoke mubeerenga bange nzekka.
27
“Omusajja oba omukazi omusamize, oba omulogo, anattibwanga. Anaakubibwanga amayinja n'attibwa. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27