bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 15
Leviticus 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
2
“Mwogere n'Abayisirayeli mubategeeze nti buli musajja alwadde enziku, taabenga mulongoofu olw'enziku ye gy'alwadde,
3
oba ng'emuleetera okutonnya, omusulo oba okuzibikira.
4
Alwadde enziku, buli kitanda ky'aneebakangako, na buli kintu ky'anaatuulangako, tekiibenga kirongoofu.
5
Era buli anaakoonanga ku kitanda ky'ow'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6
N'oyo anaatuulanga ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7
Era n'oyo anaakoonanga ku w'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
Ow'enziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu, omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
Amatandiiko ow'enziku g'anaatuulangako okwebagala ensolo, tegaabenga malongoofu.
10
Buli akwata ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11
Ow'enziku bw'anaakwatanga ku muntu nga tamaze kunaaba mu ngalo, akwatiddwako anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12
Ekintu eky'ebbumba ow'enziku ky'anaakwatangako, kinaayasibwanga. Na buli kintu kya muti ky'anaakwatangako, kinaayozebwanga mu mazzi.
13
“Ow'enziku bw'anaawonanga enziku ye, anaalindangako ennaku musanvu okwetukuza, n'alyoka ayoza ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.
14
Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agawa kabona.
15
Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'enziku ye gy'alwadde.
16
“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17
Buli kintu kya lugoye oba kya ddiba amazzi ag'obusajja kwe gatonnye, kinaayozebwanga, ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18
Era omusajja n'omukazi nga bamaze okwebaka bombi, banaanaabanga mu mazzi, ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
19
“Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. Era buli anaamukoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20
Buli kintu ky'aneebakangako, oba ky'anaatuulangako mu nnaku z'ebiseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, tekiibenga kirongoofu.
21
Buli anaakoonanga ku kitanda ky'omukazi oyo, oba ku kintu kyonna ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24
Omusajja aneebakanga naye mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, era buli kitanda kye yeebakako, tekiibenga kirongoofu.
25
“Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi, nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
26
Buli kitanda kye yeebakako, ne buli kintu ky'atuulako mu kiseera ekyo, tekiibenga kirongoofu.
27
Ne buli anaabikoonangako, taabenga mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
Omukazi oyo bw'anaakomanga okuvaamu omusaayi, anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka aba omulongoofu.
29
Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
30
Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'okuvaamu omusaayi ogwamufuula atali mulongoofu.
31
“Bwe mutyo bwe munaalabulanga Abayisirayeli ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu olw'okujaajaamya Eweema yange eri wakati mu bo.
32
“Ago ge mateeka ku musajja alwadde enziku, oba avaamu amazzi ag'obusajja,
33
ne ku mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, ne ku musajja eyeebaka n'omukazi atali mulongoofu.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
Recommended Reading
Commentary
Leviticus Commentaries
→
Devotional
Leviticus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→