bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 2
Leviticus 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 3 →
1
“Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitone eky'emmere ey'empeke, anaamalanga kukisekulamu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi. Anaayiwangako omuzigo, n'ateekako n'obubaane,
2
ekitone ekyo n'akireetera bakabona ab'olulyo lwa Arooni. Kabona anaatoolangako olubatu olw'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'abwokya wamu n'omuzigo, n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Evvumbe lyabyo eddungi, lisanyusa Mukama.
3
Ekyo ekisigaddewo ku kitone eky'obuwunga, kinaabeeranga kya bakabona. Kintu kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
4
“Ekitone bwe kinaabeeranga eky'emigaati, ginaabanga egitazimbulukusiddwa, egy'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo, oba emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egisiigiddwako omuzigo.
5
“Era oba ng'owaayo ekitone eky'emigaati egikaziddwa, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi obutaliimu kizimbulukusa, obutabuddwamu omuzigo.
6
Onoogimenyangamu ebitundu, n'oyiwako omuzigo, n'ogiwaayo, nga kye kitone eky'emmere ey'empeke.
7
“Era bw'onoowangayo emigaati egifumbiddwa mu ntamu, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, wamu n'omuzigo.
8
Onooleetanga eri Mukama ekitone ekikoleddwa mu ebyo, n'okireetera kabona, ye n'akitwala ku alutaari.
9
Kabona anaatoolangako ekitundu kyakyo, kibe akabonero akalaga nti kiweereddwayo eri Mukama, n'akyokera ku alutaari. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama.
10
Ekisigaddewo ku kiweebwayo eky'obuwunga, kinaabanga kya bakabona. Kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
11
“Tewaabengawo kitone kya buwunga kinaaweebwangayo eri Mukama nga kikoleddwa n'ekizimbulukusa. Temuukozesenga kizimbulukusa wadde omubisi gw'enjuki, mu kiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
12
Munaawangayo eri Mukama ebitone eby'ebibala ebisooka okukungulwa buli mwaka, naye tebiiyokebwenga ku alutaari.
13
Buli kitone eky'obuwunga, onookirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero k'endagaano wakati wo ne Mukama. Ebitone byo byonna obirungangamu omunnyo.
14
Ng'owaayo eri Mukama ekitone eky'ebibala ebisooka okukungulwa, onoowangayo eŋŋaano enkube mu birimba ebikyali ebibisi, ng'eyokeddwako ku muliro.
15
Onoogiteekangako omuzigo n'obubaane.
16
Kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano, n'eky'omuzigo, wamu n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo. Kye kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27