bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 17
Leviticus 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Yogera ne Arooni ne batabani be, n'Abayisirayeli bonna, obagambe nti: ‘Kino Mukama ky'alagidde:
3
Omuyisirayeli anaatambiranga ente, oba endiga, oba embuzi mu lusiisira oba ebweru waalwo,
4
n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okugiwaayo ng'ekitone eri Mukama mu maaso g'ekifo Mukama w'abeera, anaavunaanibwanga omusango ogw'okuyiwa omusaayi, era anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
5
Ekigendererwa mu tteeka lino, be Bayisirayeli okuleetanga eri Mukama ebitambiro byabwe bye babadde battira mu ttale mu bbanga, babireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, babitte, bibe ebitambiro ebiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana.
6
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku alutaari ya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayokya amasavu, ne galeeta evvumbe erisanyusa Mukama,
7
Abayisirayeli balemenga kwongera kuba batali beesigwa eri Mukama, nga bawaayo ebitambiro byabwe eri balubaale ab'embuzi ennume. Abayisirayeli banaakuumanga etteeka lino ennaku zonna.’
8
“Era obagambe nti: ‘Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro,
9
n'atakireeta eri Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’
10
“Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli bw'anaalyanga ku musaayi, nnaamutunuulizanga bukambwe, era nnaabanga sikyamubalira mu bantu bange.
11
Obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ngubawa mmwe guddaabirizenga ku lw'obulamu ku alutaari, kubanga omusaayi gwe guddaabiriza ku lw'obulamu.
12
Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Tewaabenga n'omu ku mmwe alya omusaayi, era n'omugwira abeera mu mmwe, taalyenga musaayi.’
13
“Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako ettaka,
14
kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Temuulyenga ku musaayi gwa kintu na kimu ekirina omubiri, kubanga obulamu bwakyo gwe musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako, anaazikirizibwanga.’
15
“Buli muntu, oba nzaalwa, oba mugwira, mu Bayisirayeli, anaalyanga ensolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
16
Naye bw'ataayozenga byambalo bye, era n'atanaaba mubiri, anaasigalanga si mulongoofu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27