bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 16
Leviticus 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa, nga Arooni amaze okufiirwa batabani be bombi, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.
2
N'agamba nti: “Gamba Arooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde munda w'olutimbe mu Kifo Ekitukuvu, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi eri ku ssanduuko, aleme kufa, kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe eyo ey'obusaasizi.
3
Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu ng'alina ente ennume envubuka ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa.
4
Anaamalanga kunaaba mu mazzi, n'ayambala ebyambalo ebitukuvu eby'engoye ennungi: ekkanzu n'empale, olukoba n'enkuufiira.
5
“Ekibiina ky'Abayisirayeli kinaawanga Arooni embuzi ennume bbiri ez'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu ey'ekiweebwayo ekyokebwa.
6
Anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi eyiye ku bubwe, n'addaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye.
7
Awo anaatwalanga embuzi zombi ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
8
Anaazikubiranga akalulu okulondako eneeba eya Mukama, n'eyo eneeba eya Azazeeli.
9
Arooni anaawangayo embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Mukama, n'agitta ebe ekiweebwayo olw'ekibi.
10
Naye embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Azazeeli, eneeteebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, olw'okuddaabiriza, olwo n'eryoka esindiikirizibwa eri Azazeeli mu ddungu.
11
“Arooni bw'anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye,
12
anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro, g'aggye ku alutaari mu maaso ga Mukama, n'obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, bwa mbatu bbiri, n'abireeta munda w'olutimbe.
13
Awo anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane ne gubikka entebe ey'obusaasizi n'atagiraba, aleme okufa.
14
Anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ludda lw'ebuvanjuba olw'entebe ey'obusaasizi, era n'agumansira mu maaso g'entebe eyo emirundi musanvu.
15
“Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'olutimbe, n'agumansira ku ntebe ey'obusaasizi, ne mu maaso gaayo, nga bwe yakoze ku musaayi gw'ente ennume.
16
Bw'atyo anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, okukiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'ensobi zaabwe, n'ebibi byabwe byonna. Era bw'atyo bw'anaakolanga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ebeera nabo mu makkati gaabwe abatali balongoofu.
17
Temuubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga Arooni ayingira mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okuddaabiriza ku lulwe, ne ku lw'ab'ennyumba ye, ne ku lw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
18
Olwo anaafulumanga n'agenda ku alutaari eri mu maaso ga Mukama, n'addaabiriza ku lwayo. N'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyo, ku nsonda zaayo zonna.
19
N'agimansira omusaayi n'olunwe lwe emirundi musanvu, n'agirongoosa okugiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'agitukuza.
20
“Arooni bw'anaamalirizanga okuddaabiriza olw'Ekifo Ekitukuvu n'Eweema yonna ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne alutaari, anaayanjulangayo embuzi ennamu.
21
Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi eyo ennamu, n'agyatulirako ebyonoono n'ebibi by'Abayisirayeli, n'obujeemu bwabwe bwonna, n'abizza ku mutwe gwayo, n'agisindiikiriza mu ddungu ng'etwalibwa omuntu eyategekeddwa.
22
Embuzi eyo eneetwalanga ebibi byabwe byonna, n'egenda nabyo mu nsi eteriimu bantu. Oyo agitwala anaagiteeranga mu ddungu.
23
“Awo Arooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayambulamu ebyambalo ebyeru bye yayambadde okuyingira mu Kifo Ekitukuvu, n'abireka omwo.
24
Anaanaabiranga omubiri mu Kifo Ekitukuvu, n'ayambala engoye ze, n'afuluma, n'awaayo ekitambiro ekyokebwa ekikye, n'ekitambiro ekyokebwa okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'abantu.
25
Amasavu g'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku alutaari.
26
Oyo asindiikirizza embuzi mu ddungu eri Azazeeli, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27
Ente ennume n'embuzi ez'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwazo oguyingiziddwa mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira, ne zookebwa. Amaliba, n'ennyama n'ebyenda byazo, binaayokebwanga.
28
Oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, olwo n'alyoka adda mu lusiisira.
29
“Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo, baneebonerezanga, era tebaakolenga mulimu na gumu.
30
Ku lunaku olwo, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe olw'okubatukuza, muggyibweko ebibi byammwe byonna, mube balongoofu mu maaso ga Mukama.
31
Olwo lunaabanga Sabbaato yammwe ya kuwummulira ddala, era muneebonerezanga. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna.
32
Kabona eyafukibwako omuzigo n'ayawulibwa okuba kabona mu kifo kya kitaawe, ye anaddaabirizanga ng'ayambadde ebyambalo ebyeru, ebitukuvu.
33
Anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, n'olw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'olw'alutaari, era anaddaabirizanga olwa bakabona, n'olw'abantu bonna ab'omu kibiina.
34
Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, wabeerengawo okuddaabiriza ku lw'Abayisirayeli omulundi gumu buli mwaka, olw'ebibi byabwe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27