bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 26
Leviticus 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
1
“Temwekolerenga bifaananyi oba okwesimbirawo ekifaananyi ekyole, wadde empagi esinzibwa, oba ejjinja eryole okubisinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
2
Mukuumenga Sabbaato zange, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama.
3
“Bwe munaakoleranga ku mateeka gange, ne mukuumanga ebiragiro byange,
4
nnaabawanga enkuba mu biseera byayo, ensi n'ebaza ebirime, n'emiti egy'omu nnimiro ne gibala ebibala.
5
Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta, era munaabeeranga mirembe mu nsi yammwe.
6
“Nnaabawanga emirembe mu nsi yammwe, ne mwebakanga nga tewali abatiisa. Era ndimalawo ensolo ez'akabi mu nsi yammwe, era ensi yammwe teebeerengamu ntalo.
7
Munaawangulanga abalabe bammwe.
8
Abataano ku mmwe banaawangulanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaawangulanga omutwalo mulamba. Mu lutalo, abalabe bammwe banaagwanga ne bafa mu maaso gammwe.
9
Nnaabawanga mmwe omukisa, ne mbawa okuzaala abaana bangi, era nnaakuumanga endagaano gye nakola nammwe.
10
Munaalyanga ku bye mwakungula edda ne mutereka, era munaafulumyanga ebyo ebikadde okuyingiza ebiggya.
11
Nnaabeeranga mu mmwe, era siibakyawenga.
12
Nnaatambuliranga mu mmwe, ne mba Katonda wammwe, mmwe ne muba bantu bange.
13
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mulyoke mulemenga kuba baddu baabwe. Namenyawo obuyinza obwali bubasibye ekikoligo, ne mbatambuza nga mwesimbye.
14
“Naye bwe mutampulirenga ne mutatuukiriza biragiro byange ebyo byonna,
15
era bwe munaagaananga okukwata amateeka gange ne mukyawa bye mbakuutira, era ne mutatuukiriza biragiro byange byonna, bwe mutyo ne mumenya endagaano gye nkoze nammwe,
16
ndibabonereza bwe nti: ndireeta entiisa mu mmwe. Omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso, ne bikonzibya obulamu bwammwe. Mulisiga ensigo, naye teziibagasenga, kubanga abalabe bammwe banaabawangulanga ne balya bye musize.
17
Ndibeefuulira mmwe, ne muwangulwa abalabe bammwe, ne mufugibwanga ababakyawa. Munaagwibwangamu entiisa, ne mudduka nga tewali abagoba.
18
“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
19
Nnaamenyanga obukakanyavu bw'olwetumbu lwammwe. Tewaabenga nkuba. Kale ensi yammwe erikala, n'eba ng'ekyuma.
20
Bwe munaakolanga emirimu, amaanyi gammwe ganaabafanga bwereere, kubanga ettaka lyammwe teriibazenga bibala.
21
“Era bwe munaayongeranga okumpakanya n'obutampulira, ekibonerezo kyammwe era nnaakyongerangako emirundi musanvu, okusinziira ku bibi byammwe.
22
Nnaasindikanga mu mmwe ensolo enkambwe, ne zitta abaana bammwe, era ne zizikiriza amagana gammwe. Zinaabakendeezanga obungi, n'amakubo gammwe ne gazika.
23
“N'ebyo bwe binaalemanga okubakomyawo gye ndi, ne mwongera okumpakanya,
24
kale nange ndibeefuulira ne mbabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
25
Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, ne muwalirizibwa okwewaayo eri abalabe bammwe.
26
Bwe nnaakendeezanga emmere yammwe, abakazi ekkumi baneetaaganga ekyoto kimu kyokka okufumbiramu emigaati. Banaagipimanga, ne mugirya gyonna, naye ne mutakutta.
27
“Era ebyo bwe binaalemwanga okubagonza, naye ne mwongera obutampulira n'okumpakanya,
28
olwo nnaabakyukiranga nga nsunguwadde, ne nnyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
29
Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe.
30
Nnaazikirizanga ebifo eby'oku nsozi bye musinzizaamu balubaale, ne mmenyerawo ddala ebyoterezo byammwe eby'obubaane, n'emirambo gyammwe ne ngisuula ku mirambo gy'ebyo bye musinza.
31
Nnaabeetamwanga, ne nsaanyaawo ebibuga byammwe, n'ebifo mwe musinziza, era ne sikkiriza bitambiro byammwe.
32
Ensi yammwe ndigifuula eddungu, n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu ne beewuunya okulaba bw'ezikiridde.
33
Nnaabaleeteranga entalo, ne mbasaasaanyiza mu mawanga. Ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe ne bisigala matongo.
34
Olwo ensi n'eryoka esanyukira emyaka gyayo egy'okuwummula, mmwe gye mutaagiwa nga mugirimu. Erirekebwa awo n'ewummula, mmwe nga muwaŋŋangukidde mu nsi y'abalabe bammwe.
36
“Abo ku mmwe abanaabeeranga mu buwaŋŋanguse, nnaabaleetangamu okutya, n'ekikoola ekinyeenyezebwa embuyaga, banaakiwuliranga ne badduka. Munaddukanga nga be bawondera mu lutalo, ne mugwa, nga tewali abagoba.
37
Munaalinnyaganangako mwekka na mwekka, nga tewali abawondera, era temuubengako mulabe gwe muyinza kulwanyisa.
38
Munaafiiranga mu mawanga, ne mumiribwa ensi y'abalabe bammwe.
39
Abatono ku mmwe abanaawonangawo mu nsi y'abalabe bammwe, banaakenenanga olw'ebibi byabwe, n'olw'ebibi bya bajjajjaabwe.
40
“Naye bazzukulu bammwe bwe banaayatulanga ebibi byabwe n'ebibi bya bajjajjaabwe abampakanya ne banjeemera
41
ne bandeetera okubalwanyisa n'okubatwala mu nsi y'abalabe baabwe, bazzukulu bammwe abo bwe balimala okutoowazibwa, ne bakkiriza okubonerezebwa olw'ebibi byabwe,
42
olwo ndijjukira endagaano gye nakola ne Yakobo, ne Yisaaka era ne Aburahamu, era ndijjukira ensi gye nabasuubiza.
43
Naye ensi eneemalanga kulekebwa n'ezika, bo nga tebaliimu, n'ewummula, era banakkirizanga okubonerezebwa olw'okujeemera ebiragiro byange, n'obutakwata mateeka gange.
44
Naye ebyo byonna ne bwe binaabanga bwe bityo, nga bakyali mu nsi y'abalabe baabwe, siibeegobengako, wadde okubakyawa okutuuka okubasaanyizaawo ddala, n'okumenyawo endagaano gye nakola nabo, kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
45
Naddangamu buggya endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nalaga amawanga gonna obuyinza bwange nga mbaggya mu nsi y'e Misiri, nze Mukama ndyoke mbenga Katonda waabwe.”
46
Ago ge mateeka n'ebiragiro bye yaweera Abayisirayeli ku Lusozi Sinaayi, ng'ayita mu Musa.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27