bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 7
Leviticus 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
1
“Era lino lye tteeka erifuga ekitone ekiweebwayo ng'omutango. Kiba kitukuvu nnyo.
2
Ensolo eweebwayo ng'omutango, enettirwanga ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, awattirwa ensolo eziweebwayo okwokebwa, era omusaayi gwayo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez'alutaari.
3
Amasavu gaayo gonna ganaaweerwangayo ku alutaari: omukira ogwassava, n'amasavu ag'oku byenda,
4
n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba.
5
Kabona anaabyokeranga ku alutaari, bibe ekitone ekiweebwayo eri Mukama eky'ebyokulya. Ekyo kye kitone ekiweebwayo ng'omutango.
6
Buli musajja ow'omu lulyo lwa bakabona, anaayinzanga okukiryako, naye nga kiriirwa mu Kifo Ekitukuvu, kubanga kitukuvu nnyo.
7
“Etteeka lye limu erifuga ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekitone ekiweebwayo ng'omutango: ennyama yaabyo eneetwalibwanga kabona akoze ku kitambiro.
8
Kabona akoze ku kitambiro ekyokebwa, ekireeteddwa omuntu yenna, ye aneetwaliranga eddiba ly'ekitambiro ky'akozeeko.
9
Buli kitone ekiweebwayo eky'obuwunga, ekifumbibwa nga kivumbikiddwa mu kyoto, oba ekisiikibwa mu ntamu, oba ekikalirirwa ku lusaniya, kinaatwalibwanga kabona akikozeeko.
10
Naye ebitone ebiweebwayo byonna eby'emmere ey'empeke ebitali bifumbe, ebitabuddwamu omuzigo, oba ebikalu, binaabanga bya bakabona bonna ab'olulyo lwa Arooni, era banaabigabananga kyenkanyi.
11
“Lino lye tteeka erifuga ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana.
12
Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro kino nga kya kwebaza Katonda, anaaweerangako n'ekitone eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egitabuddwamu omuzigo, oba egy'empewere, egisiigiddwako omuzigo, oba emigaati egikoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ne bunnyikira.
13
Ku kitambiro kye eky'okutabagana ky'awaayo olw'okwebaza Katonda, anaaleeterangako emigaati egizimbulukusiddwa.
14
Anaawangayo eri Mukama omugaati gumu ku buli kika eky'emigaati egyo. Gunaabanga gwa kabona amansira omusaayi gw'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana.
15
Ennyama y'ekitambiro ekyo, eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, tewaabenga esulawo.
16
“Naye ekitambiro omuntu ky'awaayo bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ennyama yaakyo eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, era efikkawo eneeriibwanga enkeera.
17
Naye ennyama eyo efikkawo n'etuuka ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga omuliro.
18
Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama takkirizenga kitambiro, era taakibalirenga oyo akiwaddeyo. Eneebanga kyenyinyalwa, era buli anaagiryangako, anaafuukanga atali mulongoofu.
19
Ennyama bw'eneekoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, teeriibwengako, eneeyokebwanga bwokebwa. “Buli abalibwa okuba omulongoofu, ye anaalyanga ku nnyama ey'ekitambiro kino.
20
Naye omuntu anaagiryangako nga si mulongoofu, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
21
Era omuntu bw'anaakoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, ekiva ku muntu oba ku nsolo, oba ku kintu ekirala eky'omuzizo, n'alya ku nnyama y'ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.”
22
Mukama n'alagira Musa,
23
agambe Abayisirayeli nti: “Temuulyenga masavu ga nte n'ag'endiga, wadde ag'embuzi.
24
Amasavu g'ensolo efudde yokka, n'amasavu g'eyo ettiddwa ensolo enkambwe, tegaaliibwenga n'akatono, naye ganaayinzanga okukozesebwa olw'emigaso emirala.
25
Buli alya amasavu g'ensolo abantu gye bawaayo eri Mukama ng'ekiweebwayo ekyokebwa, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
26
Yonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi gwonna, ka gube gwa kinyonyi oba gwa nsolo.
27
Buli anaalyanga ku musaayi gwonna, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.”
28
Mukama n'agamba Musa
29
ategeeze Abayisirayeli nti: “Buli awaayo ekitambiro olw'okutabagana, anaaleetanga ekitundu kyakyo, kibe ekitone eri Mukama,
30
n'akireeta ye yennyini mu ngalo ze, kibe ekiweebwayo ekyokebwa. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba, bibe ekitone ekiwuubibwa eri Mukama.
31
Kabona anaayokeranga amasavu ku alutaari, naye ekifuba kinaabanga kya ba lulyo lwa Arooni.
32
Ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona, kibe ekiweebwayo ekiggyibwa ku kitambiro eky'okutabagana.
33
Oyo ku b'olulyo lwa Arooni akoze ku musaayi ne ku masavu, ye anaakiweebwanga kibe omugabo gwe.
34
Ekifuba ekiwuubibwa, n'ekisambi ekya ddyo ekisitulibwa, bye nzigye ku Bayisirayeli, ku bitambiro bye bawaayo olw'okutabagana, ne mbiwa Arooni n'abaana be. Bino Abayisirayeli banaateekwanga okubiwa bakabona ennaku zonna.
35
Ogwo gwe mugabo oguggyibwa ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama, ogwaweebwa Arooni ne batabani be ku lunaku lwe baafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweereza Mukama mu bwakabona.
36
Ku lunaku olwo Mukama yalagira Abayisirayeli okubawanga omugabo ogwo. Ekyo Abayisirayeli banaateekwanga okukituukiriza ennaku zonna.”
37
Ago ge mateeka agafuga ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ng'omutango, n'ebiweebwayo olw'okwawulibwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana.
38
Eyo ku lusozi Sinaayi mu ddungu, Mukama gye yaweera Musa ebiragiro ebyo, ku lunaku lwe yagambirako Abayisirayeli okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27