bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 18
Leviticus 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti Nze Mukama, Katonda wammwe.
3
Temuugobererenga mpisa za bantu b'e Misiri gye mwabeeranga, wadde ez'abantu b'omu nsi y'e Kanaani, gye mbatwalamu. Temuutambulirenga ku mateeka gaabwe.
4
Muwulirenga amateeka gange, era mukolenga bye mbalagira. Nze Mukama Katonda wammwe.
5
Mugobererenga amateeka n'ebiragiro bye mbawa. Anaabituukirizanga, anaabanga mulamu. Nze Mukama.
6
“Tewaabenga ku mmwe asemberera wa buko yenna okwebaka naye.
7
Toswazanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko. Nnyoko teweebakanga naye.
8
Toswazanga kitaawo ng'obaako n'omu ku bakazi be abalala gwe weebaka naye.
9
Teweebakanga na mwannyoko, omwana wa kitaawo, oba owa nnyoko, k'abe nga yakulira wamu naawe awaka, oba nga yakulira walala.
10
Teweebakanga na mwana wa mutabani wo, oba owa muwala wo, kubanga ekyo kikuswaza.
11
Teweebakanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe, kubanga naye mwannyoko.
12
Teweebakanga na ssenga wo, kubanga mwannyina kitaawo.
13
Teweebakanga na nnyoko omuto, kubanga muganda wa nnyoko.
14
Teweebakanga na muka kitaawo omuto. Oyo naye aba nnyoko.
15
Teweebakanga na muka mwana wo,
16
era teweebakanga na muka muganda wo.
17
Teweebakanga na mukazi, n'ogattako muwala we, oba muwala wa mutabani we, oba owa muwala we. Ekyo kivve, kubanga abo ba buko.
18
Totwalanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we, ne weebaka naye, nga mukazi wo akyali mulamu.
19
“Teweebakanga na mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, kubanga abalibwa obutaba mulongoofu.
20
Teweebakanga na muka musajja. Ekyo kikufuula atali mulongoofu.
21
Towangayo n'omu ku baana bo kuwongerwa lubaale Moleki, n'ovumaganya erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
22
Teweebakenga na musajja munno nga bwe beebaka n'abakazi. Ekyo kyenyinyalwa.
23
Omusajja oba omukazi teyeebakenga na nsolo. Obugwenyufu obwo bumufuula atali mulongoofu.
24
“Temweyonoonanga nga mubaako n'ekimu ku ebyo kye mukola. Ebyo byonna bye byayonoona ab'amawanga ge ngoba mu nsi eno okuleetamu mmwe.
25
Ebikolwa byabwe byayonoona ensi eno, kyenva ngibonereza n'eggweeramu ddala abantu abaagirimu.
26
Baakola ebyenyinyalwa ebyo byonna, ne boonoona ensi. Naye mmwe temuubikolenga. Mwenna Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu mmwe, mukuumenga amateeka n'ebiragiro byange,
28
muleme kugobwa mu nsi eno, ng'abantu abaasooka mmwe okugibeeramu bwe baagyonoona ne bagobwamu.
29
Buli anaabangako ky'akola ku byenyinyalwa ebyo, anaabanga takyabalirwa mu bantu bange.
30
“Kale mukuumenga bye mbakuutira, mulemenga kugoberera mpisa ezo ezeenyinyalwa, ezaagobererwanga abo abaasooka mmwe okubeera mu nsi eno, era mulemenga kweyonoona nga mukola ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27