bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 14
Leviticus 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Lino lye tteeka erinaagobererwanga mu kutukuza awonyezeddwa endwadde y'ebigenge. Ku lunaku lw'anaalangirirwangako nti mulongoofu, anaaleetebwanga eri kabona,
3
kabona n'amufulumya olusiisira,n'amukebera.
4
Endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye, kabona oyo anaalagiranga okuleeta ebinyonyi bibiri ebiramu era ebirongoofu, n'omuti omwerezi, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu.
5
Awo kabona anaalagiranga okuttira ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta.
6
Anaddiranga ekinyonyi ekiramu, awamu n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa.
7
“Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo agenda okutukuzibwako endwadde y'ebigenge, n'alyoka amulangirira nti mulongoofu. N'ata ekinyonyi ekiramu, ne kibuukira mu bbanga mu ttale.
8
Omuntu oyo agenda okutukuzibwa anaayozanga ebyambalo bye, n'amwako enviiri ze zonna, n'anaaba, olwo n'abalibwa nga mulongoofu, n'alyoka ayingira mu lusiisira. Kyokka anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
9
Ku lunaku olw'omusanvu nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya bwonna ku mubiri gwe. Era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'abalibwa nti mulongoofu.
10
“Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga abaana b'endiga babiri aba sseddume, n'endiga enduusi emu ey'omwaka ogumu, zonna nga teziriiko kamogo, ne kilo ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti, n'aleeta n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo gw'ebibala by'emizayiti.
11
Kabona anaateekanga omuntu oyo n'ebintu ebyo mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
12
Awo kabona anaddiranga emu ku ndiga ento eza sseddume, awamu n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo ogw'emizayiti, n'abiwaayo ng'omutango, n'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
13
Awo anattiranga endiga eyo ento mu Kifo Ekitukuvu awattirwa ensolo ez'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ez'ebiweebwayo ebyokebwa. Anaakolanga bw'atyo kubanga ekiweebwayo olw'omutango, okufaanana ng'ekiweebwayo olw'ekibi, kiba kya kabona era kitukuvu nnyo.
14
“Kabona anaatoolanga ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
15
Kabona anaatoolanga ku muzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'agufuka mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono,
16
n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo ogwo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'agumansira emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama.
17
Anaatoolanga ku muzigo ogusigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
18
Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye, anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Mu ngeri eyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama.
19
“Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'oyo agenda okuggyibwako obutali bulongoofu. Oluvannyuma anattanga ensolo ey'ekiweebwayo ekyokebwa,
20
n'akiwaayo ku alutaari wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'aba mulongoofu.
21
“Bw'anaabanga omwavu atasobola kufuna byenkana awo, anaaleetanga omwana gw'endiga ogwa sseddume gube ogw'omutango. Gunaabanga ekiweebwayo eri Mukama nga kiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. Anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga bw'eŋŋaano, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti.
22
Era anaaleetanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri. Ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
23
Ku lunaku olw'omunaana olw'okutukuzibwa kwe, anaagaleetanga eri kabona, mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
24
“Kabona anaddiranga omwana gw'endiga oguweebwayo olw'ekibi, n'omuzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'abiwaayo eri Mukama ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa, ekitwalibwa kabona.
25
Anattanga omwana gw'endiga ogwo, n'atoola ku musaayi gwagwo n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono ogwa ddyo ne ku kigere ekisajja ekya ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
26
Awo kabona anaafukanga ku muzigo mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono,
27
n'agumansira n'olunwe lwe olwa ddyo emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama.
28
Anaatoolanga ku muzigo ogwo, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
29
Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu, okuddaabiriza ku lulwe mu maaso ga Mukama.
30
Awo anaawangayo emu ku njiibwa, oba erimu ku mayiba amato, oli bw'aba nga g'asobodde okufuna, ne liba
31
ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ne liba ekiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
32
Eryo lye tteeka ku oyo alina endwadde y'ebigenge, atasobola kufuna byetaagibwa ebya bulijjo mu kutukuzibwa kwe.”
33
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
34
“Bwe muliba nga mutuuse mu nsi y'e Kanaani, gye mbawa mmwe okuba obutaka bwammwe, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba mu nsi eyo ebaweebwa,
35
nnannyini nnyumba eyo anajjanga n'abuulira kabona nti: ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’
36
Kabona nga tannayingira kukebera ndwadde ya bigenge, anaalagiranga okufulumya buli kintu mu nnyumba eyo, bireme kufuuka ebitali birongoofu. Olwo kabona anaayingiranga ennyumba,
37
okukebera endwadde y'ebigenge. Bwe wanaabangawo amabala aga kiragalalagala, oba amamyukirivu, agalabika nga galya ekisenge,
38
kabona anaavanga mu nnyumba, n'agiggala okumala ennaku musanvu.
39
Ku lunaku olw'omusanvu anaakomangawo n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye,
40
anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu.
41
Era anaalagiranga ne bakokota ennyumba munda enjuyi zonna, langi ekolokoteddwamu n'esuulibwa ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu.
42
Ne baddira amayinja amalala ne bagazimba mu kifo kya gali agaggyiddwamu, era ne baddira langi endala ne bagisiiga ku bisenge.
43
“Awo endwadde bw'eddangamu okufuutuuka mu nnyumba ng'amayinja gamaze okuggyibwamu, nga n'ebisenge bikolokoteddwa ne bisiigibwa langi,
44
kabona anaayingiranga n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye, ebyo nga bye bigenge ebirya ennyumba, era teebenga nnongoofu.
45
Eneeyabizibwanga, amayinja gaayo n'emiti ne langi yaayo yonna binaatwalibwanga ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu.
46
Era buli anaayingiranga mu nnyumba eyo ng'ekyaggaliddwawo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47
Buli anaasulanga mu nnyumba eyo oba buli anaaliirangamu, anaayozanga ebyambalo bye.
48
“Kabona bw'anaayingiranga n'alaba ng'endwadde tezzeemu kulabika ng'ennyumba emaze okusiigibwako langi, anaalangiriranga nti ennyumba eyo nnongoofu, kubanga endwadde ewonye.
49
Okutukuza ennyumba, anaakozesanga ebinyonyi bibiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu.
50
Anattiranga ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta.
51
Anaddiranga omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, n'ekinyonyi ekiramu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa, ne mu mazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaamansiranga ennyumba emirundi musanvu.
52
Bw'atyo anaatukuzanga ennyumba ng'akozesa omusaayi gw'ekinyonyi, n'amazzi amalungi, n'omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, era n'olugoye olumyufu.
53
Anaatanga ekinyonyi ekiramu ne kibuuka mu bbanga okuva mu kibuga, ne kigenda mu ttale. Bw'atyo bw'anaatukuzanga ennyumba n'eba nnongoofu.
54
“Ago ge mateeka ku ndwadde zonna ez'ebigenge,
55
era ge mateeka ku bizimba, n'amayute, n'embalabe ezirungudde, n'ebigenge mu ngoye ne mu mayumba.
57
Ge ganaagobererwanga okusalawo ku birongoofu, ne ku bitali birongoofu.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27