bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 24
Leviticus 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omulungi oguggyiddwa mu mizayiti emisekule, ogw'okuteeka mu ttaala y'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu, eyakenga obutazikira.
3
Buli kawungeezi, Arooni anaagikoleezanga, n'agireka n'eyaka obutazikira, okutuusa enkeera ku makya, awo mu maaso ga Mukama, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna.
4
Arooni anaalabiriranga ettaala eyo ku kikondo kyayo ekya zaabu omulongoose, eyakenga mu maaso ga Mukama, obutazikira.
5
“Munaddiranga obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, kilo kkumi na bbiri, ne mufumbamu emigaati kkumi n'ebiri.
6
Munaagiteekanga mu mbu bbiri, ku buli lubu emigaati mukaaga, mu maaso ga Mukama, ku mmeeza ebikkiddwako zaabu omulongoose.
7
Era munaateekanga obubaane obulungi ku buli lubu, nga ke kabonero ak'ekitone eky'ebyokulya, ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa, mu kifo ky'emigaati.
8
Buli Sabbaato obutayosa, Arooni anaateekanga emigaati egyo mu maaso ga Mukama ku lw'Abayisirayeli, nga ye ndagaano ey'olubeerera.
9
Emigaati egyo ginaabanga gya Arooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu Kifo Ekitukuvu, kubanga ekyo kye kitundu ekitukuvu ennyo eky'ebyokulya ebitonebwa eri Mukama.”
10
Awo olwatuuka, ne wabaawo omusajja, nga kitaawe Mumisiri, kyokka nga nnyina Muyisirayeli, ayitibwa Selomiti, muwala wa Diburi, ow'omu kika kya Daani. Omusajja oyo, n'afuna enkaayana n'omusajja Omuyisirayeli nga bali mu lusiisira, n'avuma Erinnya lya Mukama, n'akolima. Ne bamuleeta eri Musa.
12
Ne bamukuuma nga balinda Mukama abategeeze eky'okumukolera.
13
Mukama n'agamba Musa nti:
14
“Oyo akolimye, mumutwale ebweru w'olusiisira. N'abo bonna abaamuwulidde, bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, okukakasa nti yakolimye, ekibiina kyonna kimukube amayinja afe.
15
Era tegeeza Abayisirayeli nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaavunaanibwanga olw'ekibi kye.
16
N'oyo anaavumanga erinnya lya Mukama, ekibiina kinaamukubanga amayinja n'afa.
17
“Oyo anattanga omuntu, naye anattibwanga.
18
N'oyo anattanga ensolo eteri yiye, anaagiriwangamu endala. Obulamu busasulwa bulamu.
19
“Omuntu bw'atuusangako muntu munne ebisago, naye bye binaamutuusibwangako.
20
Amenya munne eggumba, n'erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaasasulwanga liiso, n'erinnyo linaasasulwanga linnyo. Ebisago omuntu by'anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.
21
Anattanga ensolo, anaagiriwangamu endala. Oyo atta omuntu, naye anattibwanga.
22
Etteeka lino linaabatwalirangamu mwenna, Abayisirayeli n'abagwira abali mu mmwe, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
23
Awo Abayisirayeli, Musa bwe yamala okubategeeza ebyo, oyo eyakolima ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja n'afa. Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola nga Mukama bwe yagamba Musa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27