bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 4
Leviticus 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
ategeeze Abayisirayeli nti buli anaakolanga ekibi, n'asobya nga tagenderedde mu kintu kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira, anaakolanga bino:
3
Ssaabakabona bw'anaakolanga ekibi, bw'atyo n'aleetera abantu be omusango, anaawangayo eri Mukama olw'ekibi kye, ente ennume envubuka eteriiko kamogo.
4
Anaagireetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ateeka ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso ga Mukama.
5
Awo Ssaabakabona anaatoolanga ku musaayi gw'ente eyo, n'aguleeta mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
6
Anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'olutimbe olutukuvu.
7
Awo anaatoolanga ku musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyoterezebwako obubaane obw'akaloosa mu maaso ga Mukama mu Weema. Omusaayi gwonna ogusigaddewo anaaguyiwanga ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebitambiro, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
8
Ente eyo eweebwayo olw'ekibi, anaagiggyangamu amasavu gonna agali ku byenda,
9
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko,
10
nga bwe biggyibwa mu nte ey'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'abyokera ku alutaari eyokerwako ebiweebwayo.
11
Naye eddiba lyayo, n'ennyama yaayo yonna, n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, wamu n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo,
12
kwe kugamba ente yonna, anaagitwalanga wabweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu, ekiyiibwamu evvu, n'agyokera eyo ku muliro ku nku. Eyo awayiibwa evvu, gy'eneeyokerwanga.
13
Oba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kinaakolanga ekibi olw'okumenya ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira, ne kizza omusango nga tekigenderedde,
14
ekibi olunaamanyikanga, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka olw'ekibi, ne bagireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
15
Abakulu b'ekibiina banaateekanga ebibatu byabwe ku mutwe gwayo, nga bali mu maaso ga Mukama, n'ettirwa awo.
16
Ssaabakabona anaaleetanga ku musaayi gw'ente eyo mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama,
17
n'annyikamu engalo ye, n'agumansira emirundi musanvu awali Mukama mu maaso g'olutimbe.
18
Ogumu ku musaayi anaagusiiganga ku mayembe g'alutaari eri awali Mukama mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omulala gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, eri ku mulyango gw'Eweema eyo ye emu.
19
Ente anaagiggyangamu amasavu gonna, n'agookera ku alutaari.
20
Ku nte eyo, anaakolanga nga bw'akola ku nte eweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'ekibi ky'abantu, abantu abo ne basonyiyibwa.
21
Awo anaatwalanga ente eyo ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bw'ayokya eyo gy'aba awaddeyo olw'ekibi kye. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi ky'ekibiina.
22
Omufuzi bw'aba ye akoze ekibi, n'azza omusango olw'okumenya nga tagenderedde ekimu ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira,
23
bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone kye eky'embuzi ennume eteriiko kamogo.
24
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa mu maaso ga Mukama. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi.
25
Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gw'ekiweereddwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo. Ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyo.
26
Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku alutaari, ng'amasavu g'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omufuzi, omufuzi oyo n'asonyiyibwa.
27
Omu ku bantu aba bulijjo bw'anaakolanga ekibi, n'azza omusango, olw'okumenya nga tagenderedde, ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira,
28
bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone eky'embuzi enkazi eteriiko kamogo.
29
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa.
30
Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari.
31
Amasavu gaayo gonna anaagaggyangamu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu kitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, evvumbe lyago eddungi lisanyusa Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
32
Omuntu bw'anaaleetanga endiga nga kye kitone ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko kamogo.
33
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu kifo we battira ebitambiro ebyokebwa.
34
Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari.
35
Amasavu gaayo gonna n'agaggyamu, nga bwe baggyamu amasavu g'endiga eweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, awamu n'ebyokulya ebiweebwayo eri Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'oyo ayonoonye, era oyo anaasonyiyibwanga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27