bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 22
Leviticus 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Tegeeza Arooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu, Abayisirayeli bye bantonera, balemenga okuvumaganya erinnya lyange ettukuvu. Nze Mukama.
3
Bategeeze nti mu mirembe gyonna, buli wa mu zadde lyabwe atali mulongoofu anaasembereranga ebitukuvu Abayisirayeli bye bantonera, oyo taddengayo kujja mu maaso gange. Nze Mukama.
4
“Tewaabengawo n'omu wa mu zadde lya Arooni alwadde ebigenge oba alina enziku, anaalyanga ku bintu ebitukuvu, okutuusa lw'anaabeeranga omulongoofu. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu, bw'anaakoonanga ku kintu ekifuuse ekitali kirongoofu olw'okukoona ku kifudde, oba ku musajja avuddemu amazzi ag'obusajja,
5
oba bw'anaakoonanga ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu, oba ku muntu amufuula atali mulongoofu.
6
Buli kabona afuuka atali mulongoofu, asigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi, era taalyenga ku bitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri.
7
Enjuba ng'egudde, anaabeeranga mulongoofu. Olwo anaayinzanga okulya ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo ye mmere ye.
8
Taalyenga nnyama ya nsolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, alemenga kwefuula atali mulongoofu. Nze Mukama.
9
“Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga kwonoona ne bafa olw'okubinyoomoola. Nze Mukama abafuula abatukuvu.
10
“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu. Wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.
11
Naye omuddu, kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abo abazaalirwa mu maka ge, abo banaalyanga ku mmere ya kabona.
12
Muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali kabona, taalyenga ku bitone ebitukuvu.
13
Naye muwala wa kabona nga nnamwandu oba ng'agobeddwa bba, nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Naye atali wa mu lulyo lwa bakabona, taagiryengako.
14
“Omuntu atali wa lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'ayongeramu n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
15
Kabona taajaajaamyenga bitukuvu, Abayisirayeli bye bawaayo eri Mukama,
16
ng'akkiriza atali kabona okubiryako, n'amuleetera omusango n'ekibonerezo. Nze Mukama abitukuza.”
17
Mukama n'agamba Musa nti:
18
“Tegeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti Omuyisirayeli, oba omugwira ali mu Yisirayeli, bw'anaaleetanga eri Mukama ekitone kye ekyokebwa kye yeeyama, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde,
19
okukkirizibwa, kinaabanga nnume ey'ente, oba ey'endiga, oba ey'embuzi, eteriiko kamogo.
20
Temuuwengayo kintu na kimu ekiriko akamogo, kubanga ekitone kyammwe ekyo tekikkirizibwenga.
21
Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitambiro eky'okutabagana okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ensolo eneebanga eyo eteriiko kamogo, n'eryoka ekkirizibwa.
22
Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyaziba amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa, oba endwadde y'olususu. Ensolo ez'engeri eyo temuuziwengayo ku alutaari okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
23
Ente oba endiga eriko ekitundu ekitali kitereevu, oba ekibulako ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekitone ky'owaayo nga weeyagalidde, naye tekkirizibwa mu kutuukiriza obweyamo.
24
Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyabetentebwa, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ebibeere byayo. Ekyo temuukikolenga mu nsi yammwe.
25
“Ensolo ze muggye mu bagwira, temuuziwengayo eri Katonda wammwe ng'ekitone eky'ebyokulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko akamogo, era tezikkirizibwenga.”
26
Mukama n'agamba Musa nti:
27
“Ente, oba endiga, oba embuzi, bw'eneezaalibwanga, eneerekebwanga n'eyonka nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw'omunaana n'okusingawo, enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa.
28
Temuttenga nte, oba ndiga n'omwana gwayo ku lunaku lumu.
29
Bwe muwangayo ekitambiro eri Mukama okumwebaza, munaakiwangayo nga mutuukiriza amateeka, mulyoke mukkirizibwe.
30
Mukiryenga ku lunaku olwo lwennyini. Temuukirekengawo okutuusa enkeera. Nze Mukama.
31
“Mukuumenga ebiragiro byange, mubituukirizenga. Nze Mukama.
32
Temuuvumaganyenga linnya lyange ettukuvu, naye njagala Abayisirayeli bonna baatulenga nga bwe ndi omutukuvu. Nze Mukama abafuula abatukuvu,
33
era eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27