bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 6
Leviticus 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Wanaabangawo ekiweebwayo, omuntu bw'anaakolanga ekibi mu maaso ga Mukama, ng'agaana okuzzaayo ekintu, Muyisirayeli munne kye yamulekera ng'omusingo, oba ng'amubbako ekintu, oba ng'amulyazaamaanya,
3
oba ng'azudde ekyabula n'akiryazaamanya, n'alayira nti takirabanga.
4
Omuntu bw'abangako ekibi ky'akoze mu kimu ku ebyo byonna, anazzangayo ekyo kye yanyaga oba kye yafuna mu bukumpanya.
5
Ku lunaku lw'alizuulibwa nti alina omusango, anaasasulanga mu bujjuvu nnannyini kintu ekyo, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
6
Anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko kamogo, ey'omutango oguweebwayo eri Mukama. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo.
7
Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, omuntu oyo n'asonyiyibwa.”
8
Mukama n'agamba Musa
9
awe Arooni ne batabani be amateeka aganaafuganga ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa, kinaasigalanga ku nku ku alutaari ekiro kyonna, era omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka.
10
Awo kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekyeru, n'empale ye enjeru, n'asitula evvu eriva ku kiweebwayo ekyokeddwa ku alutaari, n'aliteeka ku mabbali g'alutaari.
11
Awo anaayambulangamu ebyambalo ebyo n'ayambala ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira, mu kifo ekibalibwa nga kirongoofu.
12
Omuliro oguli ku alutaari gunaakuumibwanga nga gwaka, awatali kuzikira n'akatono. Buli nkya kabona anaaguteekangako enku, n'atereezaako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaagwokerangako amasavu ag'ekiweebwayo olw'okutabagana.
13
Omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka bulijjo ku alutaari, awatali kuzikira n'akatono.
14
Gano ge mateeka aganaafuganga ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke: kabona ow'olulyo lwa Arooni anaabiwangayo eri Mukama mu maaso g'alutaari.
15
Anaatoolanga olubatu ku kiweebwayo eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'omuzigo, n'obubaane bwonna obukiriko, n'abyokera ku alutaari, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Akaloosa kaabyo kasanyusa Mukama.
16
Ekisigaddewo, Arooni ne batabani be banaakiryanga. Kinaafumbibwangamu emigaati egitazimbulukusiddwa, ne giriirwa mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
17
Tekiifumbirwengamu kizimbulukusa. Nze Mukama nkiwadde bakabona, kibe omugabo gwabwe, ku byange ebiweebwayo okwokebwa. Kitukuvu nnyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ng'omutango.
18
Mu mirembe gyonna egijja, buli musajja ku b'olulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako, ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Buli anaakikoonangako, anaabanga mutukuvu.
19
Mukama n'agamba Musa nti:
20
“Kino kye kitone abooluganda lwa Arooni kye banaawangayo eri Mukama, ku lunaku lwe banaasiigirwangako omuzigo okwawulibwa. Banaawangayo kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ng'eyo eweebwayo buli lunaku, ekitundu kyabwo ekimu ku makya, n'ekitundu kyabwo ekirala olweggulo.
21
Bunaatabulwangamu omuzigo, ne bufumbirwa ku lusaniya olusiikirwako. Bwe bunaamalanga okusiikibwamu ebitole, ne buleetebwa okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'emmere ey'empeke. Akaloosa kaakyo kasanyusa Mukama.
22
Mu mirembe gyonna egijja, ekitone kino kinaaweebwangayo buli muzzukulu wa Arooni akola obwassaabakabona. Kinaayokebwanga kyonna ekiramba.
23
Ekitone eky'emmere ey'empeke ekiweebwayo kabona, tekiiriibwengako. Kinaayokebwanga kyonna.”
24
Mukama n'agamba Musa
25
ategeeze Arooni ne batabani be nti: “Lino lye tteeka erinaafuganga ebiweebwayo olw'ekibi. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama. Ekiweebwayo kino kitukuvu nnyo.
26
Kabona akiwaayo, ye anaakiryanga. Kinaaliirwanga mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
27
Buli ekinaakoonanga ku nnyama yaakyo, kinaabanga kitukuvu. Era ekyambalo ekinaamansirwangako omusaayi gwakyo, banaakyolezanga mu Kifo Ekitukuvu.
28
Entamu ey'ebbumba efumbiddwamu ennyama yaakyo, eneeyasibwanga. Naye bw'eneefumbibwanga mu ntamu ey'ekikomo, entamu eyo eneekolokotebwanga n'eyozebwa n'amazzi.
29
Buli musajja ow'omu lulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako. Kitukuvu nnyo.
30
Naye singa omusaayi gwakyo guleetebwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne gukozesebwa mu mukolo ogw'okuddaabiriza olw'ekibi, tekiiriibwengako; kinaayokebwanga bwokebwa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27