bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 23
Leviticus 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
ategeeze Abayisirayeli nti: “Ennaku zino ze nnaku za Mukama enkulu, ze munaalangiriranga okukuŋŋaanirangako okusinza.
3
“Ennaku ziri mukaaga ezinaakolerwangako emirimu, naye olunaku olw'omusanvu, ye Sabbaato, lunaku lwa kuwummula. Ku olwo temuukolenga mirimu, naye munaakuŋŋaananga okusinza. Olwa Sabbaato, lunaku lwa Mukama yonna yonna gye mubeera.
4
“Zino ze nnaku enkulu eza Mukama ze munaalangiriranga mu biseera byazo ebituufu.
5
Olw'Okuyitako kwa Mukama, lutandika akawungeezi k'olunaku olw'ekkumi n'ennya, olw'omwezi ogw'olubereberye.
6
“Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa etandika ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo. Okumala ennaku musanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa.
7
Ku lunaku olubereberye olw'ennaku ezo omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza. Temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono.
8
Ennaku ezo omusanvu munaawangayo eri Mukama ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza. Temuukolenga mirimu gya mikono.”
9
Mukama n'agamba Musa
10
ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi Mukama gy'abawa, ne mukungula eŋŋaano, ekinywa ekisooka, mukitwalanga wa kabona.
11
Anaakiwangayo ng'akiwuuba mu maaso ga Mukama, ekitone kyammwe ekyo ne kikkirizibwa. Kabona anaakiwangayo ku lunaku oluddirira Sabbaato.
12
Era ku lunaku lwe munaaweerangayo ekinywa ky'eŋŋaano, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa, eky'omwana gw'endiga omulume, ogutaliiko kamogo, ogw'omwaka ogumu.
13
Awamu n'ekitone ekyo, munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ng'ekitone eky'ebyokulya. Akawoowo k'ekitone ekyo, kasanyusa Mukama. Era awamu nakyo, munaawangayo ekitone ekya lita emu ey'omwenge ogw'emizabbibu.
14
Temuulyenga ku ŋŋaano mpya, oba nga ya birimba bibisi, oba nga nsiike, oba ng'ekoleddwamu omugaati, okutuusa nga mumaze okuleeta ekitone kya Katonda wammwe. Etteeka lino linaakuumibwanga mu b'ezzadde lyammwe bonna, ennaku zonna.
15
“Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Sabbaato gye muleeteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.
16
Ku lunaku olwokutaano oluddirira Sabbaato ey'omusanvu, munaawangayo eri Mukama ekinywa ekirala eky'eŋŋaano.
17
Buli maka ganaaleetanga emigaati ebiri eri Mukama, ng'ekitone ekiwuubibwa. Buli mugaati gunaakolebwanga mu kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi eziteekeddwamu ekizimbulukusa, emigaati egyo ne mugiwaayo eri Mukama ng'ekitone eky'eŋŋaano gye munaabanga musoose okukungula.
18
Awamu n'emigaati egyo, munaawangayo endiga musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, n'ente ennume ento emu, n'endiga ennume enkulu bbiri. Zonna teziibengako kamogo. Zinaaweebwangayo eri Mukama, ng'ekiweebwayo ekyokebwa, wamu n'ekitone eky'ebyokulya n'eky'ebyokunywa. Akawoowo ak'ekitone ekyo kasanyusa Mukama.
19
Era munaawangayo embuzi ennume emu, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento bbiri, ez'omwaka ogumu ogumu, ng'ekiweebwayo eky'okutabagana.
20
Kabona anaawangayo eri Mukama emigaati wamu n'endiga, ng'ekitone ekiwuubibwa, ekitwalibwa bakabona. Ebiweebwayo ebyo bitukuvu.
21
Ku lunaku olwo munaalangiriranga, ne mukuŋŋaana okusinza. Temuulukolerengako mirimu gya mikono. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga.
22
“Bwe munaakungulanga bye mulimye mu nsi yammwe, temuukungulirenga ddala kumalayo na bya ku nsalosalo za nnimiro zammwe, era temuddenga mabega kulonderera ebyo ebisigalidde. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.”
23
Mukama n'agamba Musa nti:
24
“Gamba Abayisirayeli nti ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummulira ddala okw'ekijjukizo, okulangirirwa nga bafuuwa eŋŋombe, era munaakuŋŋaananga okusinza.
25
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, era temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono.”
26
Mukama n'agamba Musa nti:
27
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okuddaabiririzangako. Ku lunaku olwo, muneebonerezanga, era munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo eri Mukama ekitone eky'ebyokulya.
28
Temuukolenga mirimu gya mikono ku olwo, kubanga lwe lunaku olw'okuddaabiririzaako ku lwammwe, mu maaso ga Katonda wammwe.
29
Buli ateebonerezenga ku lunaku olwo, anaabanga abooleddwa mu bantu be,
30
era buli anaakolanga omulimu ku olwo, nnaamuboolanga n'aggyibwa mu bantu be.
31
Temuukolenga mulimu na gumu. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga.
32
Okuva akawungeezi k'olunaku olw'omwenda olw'omwezi, okutuuka akawungeezi k'olunaku olw'ekkumi, munaakuumanga olunaku luno lube lwa Sabbaato ey'okuwummulira ddala, era muneebonerezanga.”
33
Mukama n'agamba Musa nti:
34
“Gamba Abayisirayeli nti olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, wanaabangawo Embaga ekolerwa Mukama ey'Ensiisira, okumala ennaku musanvu.
35
Ku lunaku olw'olubereberye ku zo, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono.
36
Buli lunaku, mu nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo ekitone ekyokebwa. Lunaabanga lunaku lukulu lwa kusinzizaako, era temuukolenga mirimu gya mikono.
37
“Ezo ze nnaku enkulu, Mukama z'abalagidde, ze munaalangiriranga okukuŋŋaana okusinza, n'okuwaayo eri Mukama ebitone eby'ebyokulya, n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitone eby'emmere ey'empeke, n'ebitambiro, n'ebitone eby'ebyokunywa, buli bimu ku nnaku zaabyo.
38
Embaga ezo ze zeeyongedde ku Sabbaato za Mukama eza bulijjo. Era ebitone ebyo, bye byeyongedde ku bya bulijjo, bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebitone bye muwaayo nga mweyagalidde.
39
“Bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuzanga embaga eno, okumala ennaku musanvu, nga mutandika n'olunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu. Ku lunaku olusooka, wanaabangawo okuwummulira ddala, okwenjawulo.
40
Ku lunaku olwo, munaatwalanga ku bibala by'emiti gyammwe ebisinga obulungi. Munaatwalanga amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti egy'ebikoola ebingi, n'obuti obw'oku mbalama z'omugga, ne musanyukira ennaku musanvu, nga mutendereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
41
Munaakuzanga embaga eyo okumala ennaku musanvu buli mwaka. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna.
42
Abayisirayeli bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu,
43
ab'ezzadde lyammwe balyoke bamanye nga nabeeza Abayisirayeli mu nsiisira, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
44
Awo Musa n'ategeeza Abayisirayeli ennaku enkulu, Mukama z'abateereddewo okukuzanga.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27