bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 9
Leviticus 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 10 →
1
Ku lunaku olwaddako ng'emikolo egy'okwawula giwedde, Musa n'ayita Arooni ne batabani be n'abakulembeze ba Yisirayeli,
2
n'agamba Arooni nti: “Twala ente ennume ento, n'endiga ennume, zombi ezitaliiko kamogo, oziweeyo eri Mukama, ente ennume ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ebe ekiweebwayo ekyokebwa.
3
Awo ogambe Abayisirayeli, batwale embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'ennyana ey'omwaka ogumu, n'omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, zombi ezitaliiko kamogo, zibe ekiweebwayo ekyokebwa,
4
n'ente n'endiga ennume zibe ekiweebwayo olw'okutabagana, babitambire mu maaso ga Mukama, awamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ekitabuddwamu omuzigo. Bakole bwe batyo, kubanga Mukama anaabalabikira olwaleero.”
5
Ebyo byonna Musa by'alagidde, ne babireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Ekibiina kyonna ne kisembera, ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
6
Musa n'agamba nti: “Mukama abalagidde okukola kino, era ekitiibwa kye kinaabalabikira.”
7
Awo n'agamba Arooni nti: “Sembera kumpi n'alutaari, oweeyo ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, oddaabirize ku lulwo ne ku lw'abantu. Waayo ekitone eky'abantu, oddaabirize ku lwabwe, nga Mukama bwe yalagira.”
8
Awo Arooni n'asembera okumpi n'alutaari, n'atta ente ennume ento, nga kye kitone ekiweebwayo olw'ebibi ebibye.
9
Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'annyikamu engalo ye, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari, ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari.
10
N'alyoka ayokera ku alutaari, amasavu, n'ensigo, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
11
Kyokka ennyama n'eddiba, n'abyokera wabweru w'olusiisira.
12
N'atta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
13
Ne bamuleetera omutwe n'ebitundu ebirala eby'ensolo eyo, n'abyokera ku alutaari.
14
N'ayoza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku alutaari, ku bitundu ebirala eby'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa.
15
Bwe yamala ebyo, n'aleeta ebitone eby'abantu. N'addira embuzi ey'okuwaayo olw'ebibi by'abantu. N'agitta, n'agiwaayo, nga bwe yakola ng'awaayo olw'ebibi bye.
16
Era n'aleeta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'agiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.
17
N'aleeta ekitone ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'atoolako olubatu lw'obuwunga, n'abwokera ku alutaari, ng'abwongera ku kitone ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku.
18
N'atta ente n'endiga ennume, ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, kye yawaayo olw'abantu. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
19
Amasavu n'ensigo n'ebitundu ebisinga obulungi eby'ekibumba eby'ente n'endiga ennume,
20
n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, byonna n'abitwala ku alutaari. N'ayokera amasavu ku alutaari.
21
N'awaayo eri Mukama ebifuba n'amagulu aga ddyo, ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama, ebiba ebya bakabona, nga Musa bwe yalagira.
22
Arooni bwe yamala okuwaayo ebitambiro ebyo: ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'okutabagana, n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa. N'akka wansi.
23
Musa ne Arooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
24
Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gwokera ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa era n'amasavu. Abantu bwe baagulaba, bonna ne baleekaana, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27