bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 13
Leviticus 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba, oba ejjute, oba embalabe erungudde, ku lususu lwe, nga kiyinza okufuuka endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri Arooni kabona, oba eri omu ku bakabona ab'olulyo lwa Arooni.
3
Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu. Obwoya obuli awalwadde bwe bunaabanga bufuuse obweru, n'endwadde ng'erabika eyingidde munda okuyisa olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
4
Naye ekizimba ekirungudde bwe kiba ekyeru, nga kirabika tekiyingidde munda kuyisa lususu, n'obwoya nga tebufuuse bweru, kabona anaakuumiranga omuntu oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
5
Awo kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Bw'anaalabanga ng'endwadde esigadde nga bwe yali, teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu.
6
Kabona anaamukeberanga nate ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eba ng'ekendedde, era nga teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, alina kizimba buzimba. Awo omuntu oyo anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu.
7
Naye ekizimba bwe kineeyongeranga okubuna awalala ku lususu, nga kabona amaze okumukebera n'okumulangirira bw'ali omulongoofu, anaddangamu okweyanjula eri kabona.
8
Kabona anaddangamu okumukebera. Ekizimba bwe kiba nga kibunye awalala ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, nga by'alina bye bigenge.
9
“Omuntu ng'akwatiddwa endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona,
10
n'amukebera. Bw'aba n'ekizimba ekyeru ku lususu lwe, ekyerusizza n'obwoya, era ng'omubiri gwesaliridde awazimbye,
11
ebyo nga bye bigenge ebitawona ku lususu lwe. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Tekyetaagisa kumukuumira mu kifo yekka, kubanga ddala oyo si mulongoofu.
12
Ebigenge bwe bisaasaana ne bibuna omulwadde, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere,
13
kabona anaamukeberanga. Bw'anaalabanga ng'ebigenge bibunye omubiri gwe gwonna, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Olususu lwonna bwe luba lufuuse lweru, oyo abalibwa nti mulongoofu.
14
Naye bw'anaalabikangako ebbwa, taabenga mulongoofu.
15
Kabona anaamukeberanga nate. Bw'anaalabanga ebbwa, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebbwa bye bigenge. Olwo omuntu oyo si mulongoofu.
16
Naye ebbwa bwe liwona ne waddawo obupeeruufu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona,
17
kabona n'addamu okumukebera. Awaali ebbwa bwe waba nga wapeeruuse, oyo nga mulongoofu, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
18
“Omuntu bw'anaabanga n'ejjute ne liwona,
19
naye oluvannyuma awaali ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru, oba ebbala erimyukirivu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona.
20
Kabona anaamukeberanga. Bwe kinaalabikanga ng'ebbala liyingidde munda okuyisa olususu, n'obwoya bwawo nga bweruse, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ye ndwadde y'ebigenge efulumye mu jjute.
21
Naye kabona bw'anaakeberanga nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, olwo kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
22
Ebbala bwe linaabunanga awalala ku lususu, olwo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, mulwadde.
23
Naye ebbala bwe linaakomanga awo, ne litabuna walala, eyo nga ye nkovu y'ejjute eriwonye. Awo kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
24
“Omuntu bw'anaayokebwanga omuliro, omubiri ogwokeddwa ne gweruka, oba ne wafuuka aweeruyeru era awamyukirivu,
25
kabona anaamukeberanga. Obwoya mu kifo ekyo bwe bunaafuukanga obweru, era ne kirabika nga weesimye okuyisa olususu, ebyo bye bigenge ebifulumye awaayokebwa. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
26
Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
27
Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Awalungudde bwe wanaabunanga awalala ku lususu, eneebanga ndwadde ya bigenge. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
28
Naye awalungudde bwe wanaakomanga awo, ne wateeyongera kubuna walala, era nga langi yaawo ntangaavu, ebyo nga si bigenge. Era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro.
29
“Omusajja oba omukazi bw'abanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu,
30
kabona anaagikeberanga. Bw'eneerabikanga ng'esimye okuyisa ku lususu, era ng'enviiri ezirimu za kyenvu, era nga za ntalaga, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bye bigenge eby'oku mutwe, oba eby'oku kalevu.
31
Era kabona bw'anaakeberanga endwadde, nga terabika nti esimye okuyisa ku lususu, naye nga tewali nviiri nzirugavu, kabona anaakuumiranga omulwadde oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
32
Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga terabika nti eyingidde okuyisa olususu,
33
omulwadde anaamwangako enviiri ze okuggyako awo awalwadde, kabona n'amukuumira mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu.
34
Ku lunaku olw'omusanvu kabona anaakeberanga awalwadde. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala ku lususu, era nga tekirabika nti eyingidde okuyisa olususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu.
35
Naye endwadde bw'eneebunanga awalala ku lususu ng'omulwadde amaze okulangirirwa nti mulongoofu,
36
awo kabona anaamukeberanga. Bw'eneebanga ebunye awalala ku lususu, tekyetaagisenga kunoonya nviiri za kyenvu. Ddala oyo si mulongoofu.
37
Naye kabona bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, era ng'enviiri enzirugavu zimezeewo, endwadde ng'ewonye, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
38
“Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'amabala ameeru ku lususu,
39
kabona anaamukeberanga. Amabala bwe ganaabanga amapeeruufu, obwo nga butulututtu obufulumye mu lususu. Oyo mulongoofu.
40
“Omusajja bw'anaakuunyuukanga enviiri ku mutwe mu kawompo oba enkoto, oyo aba wa kiwalaata, mulongoofu.
42
Naye ekibambya ekimyukirivu, oba ekyeruyeru, bwe kirabika awakuunyuuse enviiri, eyo nga ndwadde ya bigenge.
43
Kabona anaamukeberanga. Bw'anaabangako ekibambya ekimyukirivu era ekyeruyeru,
44
kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, olw'ebigenge ku mutwe gwe.
45
“Omuntu alwadde ebigenge, anaayambalanga ngoye eziyulise, n'aleka enviiri ze nga si nsanirire, n'abikka ku mutwe gwe, n'alangiriranga nti: ‘Siri mulongoofu, siri mulongoofu!’
46
Ebbanga lyonna ly'anaamalanga ng'akyali mulwadde, taabenga mulongoofu. Anaabeeranga yekka. Ennyumba ye, eneebeeranga bweru wa lusiisira.
47
“Endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ku kyambalo, oba kya byoya bya ndiga, oba kya lugoye lwa bafuta,
48
oba ku kiwero eky'olugoye olwa bafuta, oba olw'ebyoya by'endiga, oba ku ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba,
49
endwadde eyo bw'eba eya kiragalalagala, oba emmyukirivu ku kyambalo oba ku ddiba, oba ku kintu ekyakolebwa mu ddiba, eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona.
50
Kabona anaagikeberanga, n'abaako w'akuumira ekintu ekyo okumala ennaku musanvu.
51
Anaddangamu okukebera endwadde eyo ku lunaku olw'omusanvu. Bw'eneebanga ebunye awalala, nga bye bigenge ebirya. Ekintu ekyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
52
Kabona anaakyokyanga mu muliro, kubanga ebyo bye bigenge ebirya. Biteekwa okuzikirizibwa.
53
“Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kintu,
54
anaalagiranga ne bakyoza, ne kiterekebwa okumala ennaku endala musanvu.
55
Awo anaakikeberanga. Endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, ne bw'eneebanga tebunye, ekyo tekiibenga kirongoofu. Munaayokyanga ekintu ekyo, okukuubuuka oba kuli munda oba kungulu.
56
Naye kabona bw'anaddangamu okukikebera, endwadde n'eterabika nnyo, anaagiyuzanga mu kyambalo oba mu ddiba.
57
Endwadde bw'eneddangamu okulabika, nga ndwadde ya bigenge. Olwo nnannyini kintu ekyo anaakyokyanga.
58
Bw'anaakyozanga, ebbala ne liggwaamu, anaddangamu n'akyoza, ne kibalibwa nga kirongoofu.
59
“Eryo lye tteeka ly'ebigenge mu kyambalo oba kya bafuta, oba kya byoya bya ndiga, oba mu kintu kyonna ekyakolebwa mu ddiba, erinaagobererwanga okulangirira ekirongoofu n'ekitali kirongoofu.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27