bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 3
Leviticus 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 4 →
1
“Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro olw'okutabagana, anaawangayo ente enkazi oba ennume eteriiko kamogo.
2
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo bakabona ab'olulyo lwa Arooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
3
ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu gonna agali ku byenda,
4
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba.
5
Bakabona banaayokyanga ebyo byonna ku alutaari, awamu n'ekitone ekyokebwa ekiri ku nku ku muliro. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama.
6
“Omuntu bw'anaawangayo endiga, oba embuzi ng'ekitambiro olw'okutabagana, oba nkazi, oba nnume, anaawangayo eteriiko kamogo.
7
Bw'awangayo omwana gw'endiga, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama.
8
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwakyo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
9
ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu, n'omukira ogwassava omulamba okusalira ku ggumba ery'omugongo, n'amasavu gonna agali ku byenda,
10
n'ensigo zombi, n'amasavu gonna agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba.
11
Kabona anaayokeranga ebyo byonna ku alutaari ng'ekitone eky'ebyokulya ekiweebwayo eri Mukama.
12
“Omuntu bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama.
13
Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari,
14
n'awaayo eri Mukama ebitundu byayo bino, bibe ekitone ekiweebwayo ekyokebwa: amasavu gonna agali ku byenda,
15
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba.
16
Kabona anaabyokeranga ku alutaari. Kye kitone eky'ebyokulya ekyokebwa, ekisanyusa Mukama. Amasavu gonna ga Mukama.
17
Temuulyenga ku masavu, wadde ku musaayi. Eryo linaabanga etteeka ery'olubeerera, lye munaakuumanga buli we munaabeeranga, ennaku zonna.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27