bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Leviticus 5
Leviticus 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 6 →
1
Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango.
2
Omuntu bwe yeekoona ku kintu ekitali kirongoofu, gamba ng'omulambo gw'ensolo ey'omu ttale oba enfuge eteri nnongoofu, oba ogw'ekyewalula, nga tategedde, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
3
Omuntu bwe yeekoona ku kintu kyonna ekivudde ku muntu ekitali kirongoofu, nga tategedde aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
4
Omuntu bw'ayanguyiriza okweyama okukola ekirungi oba ekibi, nga tataddeeyo mwoyo, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
5
Omuntu bw'anazzanga omusango mu kimu ku ebyo, anaayatulanga ekibi kye yakola.
6
Era omutango olw'omusango ogwo gw'azzizza, anaaleetanga eri Mukama endiga oba embuzi enkazi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omuntu oyo.
7
Omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi olw'enfuna ye entono, anaaleetanga eri Mukama omutango olw'ekibi kye, enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, enjiibwa emu ya kiweebwayo olw'ekibi, endala ya kiweebwayo ekyokebwa.
8
Anaazireetanga eri kabona, kabona n'asooka okuwaayo eyo eweebwayo olw'ekibi, n'anyoola obulago bwayo, naye n'atagikutulako mutwe.
9
N'amansira omusaayi gwayo ku mabbali g'alutaari, ogusigaddewo n'aguttulukusa ku ntobo y'alutaari. Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi.
10
Olwo anaawangayo enjiibwa endala, ebe ekiweebwayo ekyokebwa, ng'etteeka bwe liri. Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
11
Naye omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo njiibwa bbiri, oba mayiba abiri, olw'enfuna ye entono, anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Taateekengako muzigo wadde obubaane, kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi.
12
Anaabuleetanga eri kabona, kabona oyo n'atoolako olubatu, nga ke kabonero akalaga nti bwonna buweereddwayo eri Mukama, n'abwokera ku alutaari ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Kye kiweebwayo olw'ekibi.
13
Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Obuwunga obusigaddewo bunaabanga bwa kabona, nga bwe kiba ku kiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
14
Mukama n'agamba Musa nti:
15
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi mu butali bugenderevu, olw'okulemwa okuwaayo ebitukuvu by'ateekwa okusasula eri Mukama, anaaleetanga eri Mukama omutango gwa ndiga ennume, oba gwa mbuzi ennume eteriiko kamogo. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo.
16
Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo ekyokutaano. Anaakireetanga eri kabona, kabona n'amuddaabiririza ng'awaayo ekitambiro eky'endiga ennume ey'omutango, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
17
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi, wadde mu butanwa, ng'amenya ekimu ku biragiro bya Mukama, anaabeeranga n'omusango, era anaateekwanga okuwa omutango.
18
Anaaleetanga eri kabona omutango gwa ndiga ennume eteriiko kamogo, gy'aggye mu ndiga ze. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi kye yakola mu butanwa, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
19
Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi, omuntu kye yakola mu maaso ga Mukama.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27