bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 1
Revelation 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
1
Okubikkulirwa kwa Yezu Kristu, Katonda kwe yamuwa ategeeze abaweereza be ebyali biteekeddwa okugwawo amangu. Yabitegeeza Yowanna omuweereza we ng'amutumira malayika we;
2
Yowanna y'oyo ajulira ekigambo kya Katonda n'ebyo Yezu Kristu bye yajulira, na byonna bye yalaba.
3
Yeesiimye oyo asoma ebigambo bino ebirangiddwa, n'abo beesiimye abawulira ne bakuuma byonna ebiwandiikiddwamu; anti obudde buli kumpi.
4
Nze Yowanna, eri Ekleziya omusanvu eziri mu Aziya: Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe okuva eri Oyo aliwo, eyaliwo era ajja, era n'okuva eri emyoyo omusanvu egiri awo mu maaso ga nnamulondo ye,
5
n'okuva eri Yezu Kristu, Omujulirwa omwesigwa, omuggulanda w'abaafa, era afuga bakabaka b'ensi. Oyo atwagala, eyatusumulula mu bibi byaffe n'omusaayi gwe,
6
n'atufuula obwakabaka, bakabona ab'okuweereza Katonda era Taata, aweebwe ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
7
Wuuyo ajjira mu bire; buli liiso lijja kumulaba, na buli eyamufumita. Ebika by'ensi byonna biritema emiranga olw'okubeera ye. Bwe kiriba kityo. Amiina.
8
“Nze Alufa ne Omega,” Omukama Katonda y'agamba, oyo aliwo, eyaliwo era alijja, Omuyinza wa buli kantu.
9
Nze Yowanna, muganda wammwe, agabana nammwe mu Yezu Kristu ku kubonaabona, ku bwakabaka ne ku kugumiikiriza, nali mu kizinga ekiyitibwa Patumo olw'okubeera ekigambo kya Katonda n'olw'okujulira Yezu.
10
Nali nkwatiddwa Mwoyo ku Lunaku lw'Omukama, ne mpulira emabega wange eddoboozi eddene, kyenkana ng'ery'ekkondeere,
11
nga ligamba nti: “Wandiika mu kitabo by'olaba, okiweereze Ekleziya omusanvu: e Efezi, e Simiruna, e Perugamo, e Tiyatira, e Sarudi, e Filadelufiya n'e Lawodikeya.”
12
Ne nkebuka ndabe eddoboozi eriŋŋamba. Bwe nakebuka, ne ndaba ebikondo by'ettawaaza musanvu ebya zaabu.
13
Wakati mu bikondo by'ettawaaza nga waliwo afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'ayambadde ekizibawo ekikka okutuuka ku bigere, nga yeesibye omusipi ogwa zaabu mu kifuba;
14
omutwe gwe n'enviiri ze nga byeru ng'ebyoya by'endiga ebyeru, ng'omuzira; amaaso ge nga gali ng'olulimi olw'omuliro;
15
ebigere bye nga bifaanana ng'ekyuma eky'ekikomo ekizigule ekimaze okutukuzibwa mu kabiga, n'eddoboozi lye nga liri ng'ery'amazzi amangi.
16
Mu mukono gwe ogwa ddyo yalinamu emmunyeenye musanvu; mu kamwa ke nga muvaamu ekitala ekyogi ku njuuyi zombi; amaaso ge nga gali ng'enjuba eyaka n'amaanyi.
17
Bwe namulaba, ne ngwa ku bigere bye nga ndi ng'omufu; kyokka ye n'anzisaako omukono gwe ogwa ddyo, n'agamba nti: “Totya, nze Mubereberye, nze Muvannyuma;
18
nze Mulamu. Nali nfudde, ate kati laba ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo by'olumbe n'amagombe.
19
Kale nno wandiika by'olaba kati n'ebyo ebinaatuuka gye bujja.
20
Ekyama ekiri mu mmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ebikondo bya zaabu omusanvu kye kino: emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'Ekleziya omusanvu, ate ebikondo omusanvu ze Ekleziya omusanvu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22