bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 12
Revelation 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
1
Ate akabonero akanene ne kalabika mu ggulu: Omukazi ayambadde enjuba, ng'omwezi guli wansi w'ebigere bye, ku mutwe gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi na bbiri.
2
Yali lubuto, n'aleekaana mu kulumwa; yali akabiriddwa ng'azaala.
3
Era mu ggulu ne walabikayo akabonero akalala: Ssessota omunene owa kawemba ng'alina emitwe musanvu n'amayembe kkumi, ku buli mutwe nga kuliko omuge.
4
Akawuuwo nga kawalula ekitundu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu; ne kazikuba ku nsi. Ssessota oyo n'ayimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, alye omwana omukazi olunaamala okumuzaala.
5
Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, nga ye w'okufuga amawanga gonna ne ddamula ow'ekyuma; ye omwana we n'asitulibwa n'atwalibwa ewa Katonda ku nnamulondo ye.
6
Omukazi n'addukira mu ddungu eyo Katonda gye yali amutegekedde ekifo, bamulabiririre eyo ebbanga lya nnaku lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7
Awo mu ggulu ne wasituka olutalo olunene, Mikayeli ne bamalayika be nga balwanyisa ssessota; ssessota ne bamalayika be ne balwana,
8
naye ne bawangulibwa, ne babulwa akafo akalala konna we bayinza okubeera mu ggulu.
9
Ssessota omunene n'akanyugibwa wansi, y'oyo omusota ogw'edda oguyitibwa Omuloopi oba Sitaani, eyalimbalimba ensi yonna; yakanyugibwa wansi, ne bamalayika be ne bakanyugibwa wamu naye.
10
Mu ggulu ne mpulirayo eddoboozi ery'omwanguka nga ligamba nti: “Kati obulokofu butuuse, ko n'obuyinza, n'obufuzi bwa Katonda n'obufuzi bwa Kristu we, anti eyakonjeranga baganda baffe ewa Katonda ekiro n'emisana, akasukiddwa wansi.
11
Bamuwangudde n'omusaayi gw'Akaliga n'olw'ekigambo kye baajulira, kubanga obulamu bwabwe tebaabufaako n'okutuukira ddala okufa.
12
Wamma eggulu sanyuka, nammwe mwenna abalisulamu! Wabula zibasanze mmwe ensi n'ennyanja! Kubanga Sitaani akkiridde eyo mu mmwe n'obusungu obw'ekitalo, kubanga amanyi nti akabanga asigazizza katono.”
13
Ssessota bwe yalaba akasukiddwa mu nsi, n'agoba omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.
14
Naye omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, abuuke alage mu ddungu, mu kifo kye gy'ajja okulabiririrwa okumala ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera nga ssessota tamulabako.
15
Omusota ne gusesema mu kamwa kaagwo amazzi kyenkana mugga mulamba gawondere omukazi, gumutwalire mu mugga.
16
Kyokka ettaka ne liyamba omukazi, ne lyasamya akamwa kaalyo, ne limira omugga ssessota gwe yali afumbukudde mu kamwa ke.
17
Ssessota n'asunguwalira omukazi, n'agenda okulumba abalala abasigadde mu zzadde lye, abo abakwata ebiragiro bya Katonda, abajulira Yezu.
18
Awo ssessota n'ayimirira ku lubalama lw'ennyanja.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22