bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 22
Revelation 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Ate malayika n'andaga omugga gw'amazzi ag'obulamu, ogutukula ng'ejjinja ettangaavu, nga gukulukuta guva mu nnamulondo ya Katonda n'ey'Akaliga.
2
Wakati w'oluguudo lw'ekibuga n'omugga, ku ludda olw'eno ne ku ludda olw'eri olw'omugga, nga kuliko emiti egy'obulamu egibala emirundi kkumi n'ebiri buli mwaka, buli mwezi omulundi gumu; ebikoola byagyo nga bya kuwonya amawanga.
3
Temukyabeeramu kivumirire, wabula nnamulondo ya Katonda n'ey'Akaliga ze zinaabeerangamu; abaweereza be balimusinzanga,
4
balirabanga amaaso ge, n'erinnya lye liribabeeranga mu byenyi byabwe.
5
Ekiro tekiribeerawo mulundi mulala; tebalyetaaga kitangaala kya ttawaaza oba eky'enjuba, kubanga Omukama Katonda waabwe y'alibamulisanga; baliramula emirembe n'emirembe.
6
Ate n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima. Omukama Katonda w'emyoyo gy'abalanzi, y'atumye malayika we okutegeeza abaweereza be ebiteekwa okutuuka amangu.
7
“Nzuuno nzija mu bbanga ttono.” Yeesiimye akwata ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino.
8
Nze Yowanna nze nawulira era ne ndaba ebintu bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne neeyala ku bigere bya malayika eyali abindaga mmusinze.
9
N'aŋŋamba nti: “Togeza! Nange ndi muweereza munno, munne w'abaganda bo abalanzi n'abo abakwata ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino. Sinza Katonda.”
10
N'aŋŋamba nti: “Ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino tobisirikira, kubanga obudde buli kumpi.
11
Omwonoonyi ayongere okwonoona, omwonoonefu ayongere okweyonoona; ayisa obulungi ayongere okuyisa obulungi, n'omutuukirivu ayongere okuba omutuukirivu.
12
Nzuuno nzija mu bbanga ttono nga ndeeta n'empeera yange gye nnaasasula buli omu nga ngerera ku bikolwa bye.
13
Nze Alufa ne Omega, Omubereberye era Omuvannyuma, Amasooka n'Enkomerero.”
14
Beesiimye abo abayoza ebyambalo byabwe bakkirizibwe ku muti ogw'obulamu, era bakkirizibwe okuyingira mu kibuga nga bayita mu miryango.
15
Ebweru eriyo mbwa, balogo, benzi, batemu, basamize na buli ayagala n'akola eby'obulimba.
16
“Nze Yezu nkutumidde malayika wange ojulire bino ku lwa Ekleziya. Nze kikolo era akalokolerwa ka Dawudi, emmunyeenye y'oku makya eyakaayakana.”
17
Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu!” N'oyo awulira, agambe nti: “Jjangu!” Alumwa ennyonta ajje; ayeegomba afune ku mazzi ag'obulamu ku bwereere.
18
Ndabula buli awulidde ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino, nti singa oli abyongerako, naye Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
19
Ate singa oli aggyako ku bigambo ebirangiddwa mu kitabo kino, Katonda aliggyawo omugabo gwe ku muti ogw'obulamu ne mu kibuga ekitukuvu ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
20
Oyo akakasa ebirangiddwa bino agamba nti: “Mazima nzija mu bbanga ttono.” Amiina. Jjangu, Mukama Yezu!
21
Eneema y'Omukama Yezu ebeere na bonna. Amiina.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22