bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 6
Revelation 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Ate ne ndaba Akaliga bwe kabembula emu ku nvumbo omusanvu; ne mpulira ekimu ku biramu nga kyogera mu ddoboozi ng'ery'eraddu nti: “Jjangu!”
2
Bwe natunula, laba embalaasi enjeru; eyali agyebagadde yalina omusaale; n'aweebwa engule, n'afuluma nga yeekaaliisa agende ng'awangula.
3
Bwe kaabembula envumbo eyookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kigamba nti: “Jjangu!”
4
Ne wafubutukayo embalaasi endala ey'akawemba; eyali agyebagadde n'aweebwa okuggya eddembe mu nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene.
5
Bwe kaabembula envumbo eyookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Bwe natunula, laba embalaasi enzirugavu; eyali agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe.
6
Ne mpulira ekiri ng'eddoboozi eryogerera wakati mu biramu ebina nga ligamba nti: “Ekigero ky'eŋŋano kimu kya dinaari emu, ebigero bya sayiri bisatu bya dinaari emu; naye evviini n'omuzigo tobikolako kabi.”
7
Bwe kaabembula envumbo eyookuna, ne mpulira eddoboozi ery'ekiramu ekyokuna nga ligamba nti: “Jjangu!”
8
Bwe natunula, laba embalaasi ensiiwuufu; eyali agyebagadde nga bamuyita Walumbe, amagombe nga gagenda gamugoberera. Baaweebwa obuyinza ku kyokuna eky'ensi, bagende nga batta nga beeyamba ekitala, enjala, kawumpuli n'ebisolo eby'oku nsi.
9
Bwe kaabembula envumbo eyookutaano, ne ndaba wansi w'omwaliiro emyoyo gy'abo abattibwa olw'okubeera ekigambo kya Katonda n'olw'okubeera okujulira kwe baali bakoze.
10
Baali baleekaana n'eddoboozi eddene nti: “Ayi Nnyinibuyinza, ggwe omutuukirivu era ow'amazima, bunaaba ddi n'olamula n'okuwoolera eggwanga olw'omusaayi gwaffe ku abo bonna abali mu nsi?”
11
Awo buli omu n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne balagirwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutta nga bo nga bamaze okuggwaayo.
12
Bwe kaabembula envumbo eyoomukaga, bwe natunula, laba ne wabaawo musisi ow'amaanyi, enjuba n'eddugala okufaanana ekikutiya ekikole mu byoya by'endiga; n'omwezi gwonna ne gufuuka ng'omusaayi.
13
N'emmunyeenye ez'eggulu ne ziwandagala ku nsi ng'omukunyu bwe gukunkumula entontogolo zaagwo nga gunyeenyezeddwa kikuŋŋunta ow'amaanyi.
14
Eggulu ne libulawo ng'omuzingo gw'ekitabo oguzingiddwako; n'ensozi zonna n'ebizinga ne bijjulukuka mu bifo byabyo.
15
Olwo bakabaka b'ensi, abakungu, n'abagabe b'amagye, abagagga ne bakirimaanyi, leero buli muntu, omuddu n'omwana ow'eddembe, ne beekukuma mu mpuku ne mu mayinja ag'omu nsozi.
16
Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke amaaso g'atudde ku nnamulondo n'obusungu bw'Akaliga,
17
anti olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lumaze okutuuka, ani anaasobola okulugumira?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22