bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 9
Revelation 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Ne malayika owookutaano n'afuuwa ekkondeere: ne ndaba ng'emmunyeenye eyavudde edda mu ggulu n'egwa ku nsi eweebwa ekisumuluzo ky'obuya bw'ennyanga.
2
N'aggulawo obuya bw'ennyanga, omukka ne guva mu buya kyenkana ng'ogw'omu kabiga akanene; enjuba n'empewo ne biddugala olw'omukka ogwava mu buya.
3
Mu mukka omwo ne mufubutukamu enzige, ne zigwa ku nsi, ne ziweebwa obuyinza okwenkana obuyinza bw'enjaba ez'oku nsi.
4
Ne ziragirwa obutakola kabi ku muddo ogw'omu nsi yadde ku buli kimera kyonna ne ku buli muti, wabula ku bantu bokka abatalina kabonero ka Katonda mu kyenyi kyabwe;
5
ne zigaanibwa okubatta, wabula ne ziweebwa okubabonyaabonya okumala emyezi etaano; mu kubonyaabonya nga zirumya ng'enjaba bw'ekola ng'erumye omuntu.
6
Mu nnaku ezo abantu balinoonya olumbe naye ne batalusanga; balyegomba okufa, naye olumbe ne lubeesamba.
7
Enzige ezo zaafaanananga ng'embalaasi ezitaze okulwana; ku mitwe gyazo nga zirina ekiri ng'engule eza zaabu, ate obwenyi bwazo nga bufaanana ng'obwenyi bw'abantu.
8
Enviiri zaazo nga ziri ng'enviiri z'abakazi, amannyo gaazo nga gali ng'amannyo g'empologoma.
9
Zaalina amagamba agali ng'ebizibawo ku kifuba eby'ekyuma; okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byazo nga kuli ng'okw'ebigaali by'embalaasi ebingi ebigenda okulumba.
10
Zaali zirina emikira ng'egy'enjaba, nga kuliko amayindu; obuyinza bwazo obw'okukolera abantu obubi okumala ebbanga ery'emyezi etaano buziri mu mikira gyazo.
11
Zaalina kabaka azifuga, ye malayika w'omu nnyanga. Mu Lwebureeyi ayitibwa Abaddoni, ate mu Lugereeki Apolluwoni.
12
Ekikolimo ekimu kiwedde, ate wakyaliyo ebikolimo bibiri eby'okujja.
13
Ate malayika owoomukaga n'afuuwa ekkondeere, ne mpulira eddoboozi eriva mu mayembe ana ag'omwaliiro ogwa zaabu oguli awo mu maaso ga Katonda,
14
nga ligamba malayika owoomukaga eyali alina ekkondeere nti: “Sumulula bamalayika abana abaasibibwa ku mugga omunene Ewufuraati.”
15
Awo Bamalayika abana ne basumululwa, abaali awo nga bategekeddwa essaawa yonna, olunaku lwonna, omwezi gwonna, omwaka gwonna okutta ekitundu ekyokusatu eky'abantu.
16
Omuwendo gw'abalwanyi ab'eggye eryebagazi gwali obukumi bubiri emirundi kakumi; omuwendo gwabwe naguwulira.
17
Embalaasi bw'enti bwe naziraba mu kulabikirwa kwange: abeebagazi baalina ebizibawo eby'okukifuba ebimyufu ng'omuliro, ebya bululu omukwafu, n'ebya kyenvuyenvu ng'ebibiriiti; emitwe gy'embalaasi nga giri ng'egy'empologoma; mu kamwa kaazo nga mufubutukamu omuliro n'omukka n'ebibiriiti.
18
Mu bibonoobono bino ebisatu ekyokusatu eky'abantu kyattibwa omuliro, omukka n'ebibiriiti ebyavanga mu kamwa k'embalaasi.
19
Anti obuyinza bw'embalaasi ezo bwalinga mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo; emikira gyazo nga gifaanana ng'emisota, nga kuliko n'emitwe; gino gye gyeyambanga okulumya.
20
Abantu abalala bonna abatattibwa bibonoobono bino, baagaana okwenenya ebikolwa by'emikono gyabwe, wadde okulekayo okusinza emyoyo emibi, n'ebifaananyi bya balubaale ebya zaabu, n'ebya ffeeza, n'eby'ekikomo, n'eby'amayinja, n'eby'emiti, ebitayinza kulaba oba okuwulira oba okutambula.
21
Era tebeenenya butemu bwabwe, bulogo bwabwe, bwenzi bwabwe na bubbi bwabwe.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22