bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 17
Revelation 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu, nzija kukulaga okulamulibwa kw'omukazi omwenzi kkungwa atudde ku mazzi amangi,
2
bakabaka b'ensi gwe baayendako, n'omwenge ogw'obukaba bwe abantu b'oku nsi gwe baatamiira.”
3
Awo n'anzigya awo n'antwalira mu Mwoyo mu ddungu. Ne ndaba omukazi atudde ku kisolo ekimyufu ekyali kibunye kungulu kwonna amannya agavuma Katonda, nga kirina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.
4
Omukazi yali ayambadde ebyakakobe n'ebimyufu, nga yeetonye n'ebya zaabu, amayinja ag'omuwendo n'amalulu, mu mukono gwe ng'alinamu ekikompe ekya zaabu ekijjudde ebyenyinyalwa n'obwonoonefu bw'obwenzi bwe.
5
Ku kyenyi kye nga kuwandiikiddwako erinnya ery'amakulu amakusike: 'Babiloni ow'Ekitalo, Nnyina wa bamalaaya n'ebyenyinyalwa by'ensi'.
6
Ne ndaba omukazi oyo atamidde omusaayi gw'abatuukirivu n'ogw'abajulizi ba Yezu. Bwe namulaba, ne mmwewuunya ne ssekwewuunya yenna.
7
Malayika n'aŋŋamba nti: “Weewuunyiza ki? Kale nzija kukubuulira amakulu amakusike ag'omukazi n'ekisolo ekimusitudde ekirina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
8
“Ekisolo ky'olabye, kyaliwo, kati tekikyaliwo; kijja kuva mu nnyanga, kigende kizikirizibwe; abali ku nsi abalina amannya agataawandiikibwa mu kitabo kya bulamu okuva ensi lwe yabangibwawo, bagenda kwewuunya bwe baliraba ekisolo, kubanga kyaliwo, tekikyaliwo, ate kigenda kujja.
9
Wano weetaagisa okuba n'omwoyo ogw'amagezi. Emitwe omusanvu bwe busozi omusanvu omukazi oli kw'atudde.
10
Era be bakabaka omusanvu, ku bo abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannajja; bw'alijja, ajja kumalawo akabanga katono.
11
Ate ekisolo ekyaliwo kati nga tekikyaliwo, ky'ekyomunaana, nga naye kigenda na biri omusanvu, nakyo kigenda mu kuzikirira.
12
Ate amayembe ekkumi ge walabye, be bakabaka ekkumi abatannafuna bwakabaka. Kyokka bagenda kufuna obuyinza obw'obwakabaka ebbanga lya ssaawa emu wamu n'ekisolo.
13
Bonna bassa kimu era bawa ekisolo obuyinza bwabwe n'okufuga.
14
Bajja kulwanyisa Akaliga; Akaliga kagenda kubawangula kubanga ko ye Mukama w'abakama, ye Kabaka wa bakabaka, ate abo abali nako baayitibwa, balondemu era beesigwa.”
15
Ate n'aŋŋamba nti: “Amazzi g'olabye, omukazi omwenzi kw'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
16
Ate amayembe ekkumi g'olabye, go n'ekisolo birikyawa omukazi omwenzi. Bagenda kumwaya, bamuleke bwereere, balye ennyama ye, bamwokye n'omuliro asirikke.
17
Kubanga Katonda y'atadde mu mitima gyabwe okutuukiriza ky'ateesa nga bassa kimu n'okuwa ekisolo obuyinza bwabwe n'obwakabaka okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birimala okutuukirizibwa.
18
Ate omukazi gwe walabye, kye kibuga ekinene ekirina obuyinza ku bakabaka b'ensi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22