bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 11
Revelation 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
1
Awo ne mpeebwa olumuli olufaanana omuggo ogupima, ne baŋŋamba nti: “Situka opime Ekiggwa kya Katonda n'omwaliiro n'abasinzizaamu;
2
naye oluggya oluli ebweru w'Ekiggwa luleke, tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, bajja kulinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
3
Nzija kutuma abajulirwa bange babiri bamale ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga nga balanga, nga bambadde ebikutiya.
4
Abo gye miti gy'oliva ebiri, bye bikondo by'ettawaaza ebibiri ebiyimirira mu maaso g'Omukama w'ensi.
5
Bwe wabaawo ayagala okubakolera obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe ne guwemmenta abalabe baabwe. Buli yenna ayagala okubakolera obubi, wa kufa.
6
Abo balina obuyinza okusiba eggulu enkuba n'etetonnya ennaku zonna ze banaamala nga balangirira; ate balina n'obuyinza obw'okufuula amazzi omusaayi, n'okukuba ensi na buli kibonoobono emirundi gyonna gye baagala.
7
Bwe banaamala okujulira, ekisolo ekinaava mu nnyanga kijja kubaggulako olutalo, kibawangule, kibatte.
8
Emirambo gyabwe girisigala awo ku luguudo lw'ekibuga ekikulu, mu kugereesa ekiyitibwa Sodoma oba Misiri, eyo ne Mukama waabwe gye yakomererwa.
9
Okumala ennaku ssatu n'ekitundu abantu okuva mu mawanga, ebika, ennimi n'ensi balyerolera emirambo gyabwe, era emirambo egyo tebaligiganya kuziikibwa mu ntaana.
10
Abantu ab'omu nsi balyekulisa okubeera bo, ne basanyuka ne baweerezagana ebirabo, kubanga abalanzi abo ababiri baalabisa ennaku abantu abali ku nsi.”
11
Nga wayise ennaku ssatu n'ekitundu omukka ogw'obulamu okuva ewa Katonda ne gubayingiramu, ne bayimirira ku bigere byabwe; entiisa ey'amaanyi n'ekwata abo abaabalaba.
12
Ne bawulira eddoboozi eddene nga liva mu ggulu nga libagamba nti: “Mwambuke eno!” Ne bagendera mu kire, ne balinnya mu ggulu abalabe baabwe nga balaba.
13
Mu kabanga ako ne wasituka musisi ow'amaanyi, ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; abantu kasanvu ne battibwa mu musisi oyo, abaasigalawo ne batya, ne batendereza Katonda ow'eggulu.
14
Ekikolimo ekyokubiri kiwedde; ekyokusatu kijja kujja mangu.
15
Ne malayika owoomusanvu n'afuuwa ekkondeere; mu ggulu ne wasituka amaloboozi agoogerera waggulu nga gagamba nti: “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwakabaka bwa Mukama waffe ne Kristu we, ajja kulamula emirembe n'emirembe.”
16
Abakadde abiri mu abana abatudde ku ntebe zaabwe mu maaso ga Katonda ne bagwa wansi ku maaso gaabwe, ne basinza Katonda
17
nga bagamba nti: “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda, Omuyinza wa buli kantu, aliwo era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obukulu n'olamula.
18
Amawanga gaasunguwala, naye naawe obusungu bwo butuuse, era n'akadde k'abafu balamulibwe, oweere empeera abaweereza bo, abalanzi n'abatuukirivu, n'abatya erinnya lyo, abatene n'abanene, osaanyeewo abo abasaanyaawo ensi.”
19
Awo Ekiggwa kya Katonda eky'omu ggulu ne kiggulwawo, Ssanduuku ye ey'Endagaano ye n'erabika munda mu Kiggwa kye. Ne wasituka ebimyanso, amaloboozi, okubwatuka, musisi, n'omuzira ogw'amaanyi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22