bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 21
Revelation 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya; anti eggulu eryasooka n'ensi eyasooka byali bigenze, n'ennyanja nga tekyaliwo.
2
Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yeruzaalemu ekiggya, nga kikkirira kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayambaziddwa olwa bba.
3
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu nnamulondo nga ligamba nti: “Mulabe, ekisulo kya Katonda kiikino kiri mu bantu; ajja kusula mu bo, nabo balibeera bantu be, ne Katonda yennyini alibeera nabo.
4
Alibasangula buli zziga mu maaso gaabwe, nga tewakyali kufa yadde ennaku, nandibadde okukuba emiranga yadde obulumi, kubanga olwo eby'edda nga biwedde.”
5
Awo eyali atudde ku nnamulondo n'agamba anti: “Laba byonna mbizza buggya.” Era n'aŋŋamba nti: “Wandiika kino, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.”
6
Era n'aŋŋamba nti: “Kiwedde! Nze Alufa ne Omega, Amasooka n'Enkomerero. Oli alumwa ennyonta ndimuwa amazzi okuva mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu ku bwereere.
7
Aliba awangudde, alisikira bino, nange ndibeera Katonda we naye n'aba mwana wange.
8
Naye abatiitiizi, abatali beesigwa, abeenyinyalwa, abatemu, abenzi, abalogo, abasamize na bonna abalimba, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro n'ebibiriiti; okwo kwe kufa okwokubiri.”
9
Omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya ebijjudde ebibonoobono omusanvu eby'oluvannyuma, n'ajja n'ayogera nange, n'agamba nti: “Jjangu, nkulage omugole, mukyala w'Akaliga.”
10
N'anzigya awo n'antwalira mu mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'annengeza ekibuga ekitukuvu, Yeruzaalemu, nga kikkirira kiva mu ggulu ewa Katonda,
11
nga kirina ekitiibwa kya Katonda, okutangalijja kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo yasipi, nga kitukula ng'ejjinja ettangaavu.
12
Kyali kiriko bbugwe omunene omuwanvu, nga kuliko emiryango kkumi n'ebiri, nga ku miryango kuliko bamalayika kkumi na babiri, era nga ku miryango kuliko amannya ag'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Yisirayeli agawandiikiddwako;
13
ebuvanjuba ng'eriyo emiryango esatu, emambuka emiryango esatu, emaserengeta emiryango esatu n'ebugwanjuba emiryango esatu.
14
Bbugwe w'ekibuga ng'atudde ku mayinja kkumi n'abiri ag'omu musingi, ku go nga kuliko amannya kkumi n'abiri ag'Abatume ekkumi n'ababiri ab'Akaliga.
15
Eyali ayogera nange yalina olumuli olupima olwa zaabu, olw'okupima ekibuga n'emiryango gyakyo ne bbugwe.
16
Ekibuga kyali kya njuuyi nnya ezenkanankana, obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bwakyo; n'apima ekibuga n'olumuli, zaali sitadiyo akakumi kamu mu enkumi bbiri; obuwanvu, obugazi n'obusimba nga byenkana.
17
N'apima ne bbugwe waakyo, ng'aweza emikono kikumi mu ana mu ena mu kipimo ky'omuntu, kwe kugamba ekya malayika.
18
Bbugwe yali azimbiddwa n'ejjinja lya yasipi, naye ekibuga kyennyini nga kya zaabu omwereere omutangaavu ng'ekirawuli.
19
Emyaliiro gy'ekibuga nga giwundiddwa n'amayinja ag'omuwendo aga buli ngeri. Omwaliiro ogusooka nga gwa yasipi, ogwokubiri nga gwa saffiro, ogwokusatu nga gwa akyate, ogwokuna nga gwa simaragido,
20
ogwokutaano nga gwa oniki, ogwomukaaga nga gwa sarudiyo, ogwomusanvu nga gwa kirusolito, ogwomunaana nga gwa berullo, ogwomwenda nga gwa topaziyo, ogw'ekkumi nga gwa kirusopurazo, ogw'ekkumi n'ogumu nga gwa yasinto, ogw'ekkumi n'ebiri nga gwa ametisito.
21
Ate emiryango ekkumi n'ebiri gyali gya malulu, buli mulyango nga gukoleddwa mu ddulu limu. Enguudo z'omu kibuga nga za zaabu omwereere omutangaavu ng'ekirawuli.
22
Saalabamu Kiggwa, kubanga ekiggwa kyamu ye Mukama Katonda Omuyinza wa buli kantu n'Akaliga.
23
Ekibuga tekyetaaganga njuba, yadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kyali kikitangaaza; ate ettawaaza yaamu ke Kaliga.
24
Amawanga galitambulira mu kitangaala kyakyo, n'abafuzi b'ensi balireeta amakula gaabwe mu kyo.
25
Emiryango tegiriggalwanga emisana lyonna, anti eyo teriba kiro.
26
Balireetanga mu kyo amakula n'obugagga bw'amawanga.
27
Temuliyingiramu kikyafu na kimu, wadde oyo akola ebyenyinyalwa n'eby'obulimba; wabula abo bokka abawandiike mu kitabo ky'obulamu eky'Akaliga.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22