bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 19
Revelation 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
1
Oluvannyuma, ne mpulira mu ggulu ekiri ng'eddoboozi ery'amaanyi ery'ebbiina eddene, nga ligamba nti: “Alleluuya! obulokofu, ekitiibwa n'obuyinza bya Katonda waffe.
2
Kuba ennamula ye y'amazima era ntuukirivu; y'alamudde omwenzi ono kkungwa, eyayonoona ensi yonna n'obwenzi bwe; amwesasulizzaako olw'omusaayi gw'abaweereza be be yatta.”
3
Ate ne baddamu nti: “Alleluuya! Erikka lye lirittunka emirembe n'emirembe.”
4
Abakadde abiri mu abana ne beeyala, ko n'ebiramu ebina, ne bavunnamira Katonda atudde ku nnamulondo nga bagamba nti: “Amiina. Alleluuya!”
5
Ate eddoboozi ne liva ku nnamulondo nga ligamba nti: “Mugulumize Katonda, mwenna abaweereza be; mwenna abamutya, abatene n'abanene.”
6
Ne mpulira ekiri ng'eddoboozi ly'ebbiina eddene, ng'okuwuuma okw'amazzi amangi, ng'okubwatuka kwa laddu ez'amaanyi, nga ligamba nti: “Alleluuya! Omukama Katonda, Omuyinza wa buli kantu afuga.
7
Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa, kubanga embaga y'Akaliga etuuse, ne mugole we yeetegese dda.
8
Ateekwa okwambala engoye empeweevu, ezitangalijja, ezitukula;” - anti engoye ezo bye bikolwa ebirungi eby'abatuukirivu.
9
N'aŋŋamba nti: “Wandiika kino: Beesiimye abayitiddwa ku mbaga y'Akaliga.” Ate n'aŋŋamba nti: “Bino bigambo bya Katonda, bya mazima.”
10
Ne ngwa ku bigere bye okumusinza. N'aŋŋamba nti: “Togeza. Nange ndi muweereza munno, era munne wa baganda bo alina okujulira kwa Yezu. Katonda gw'oba osinza.” Kubanga okujulira kwa Yezu gwe mwoyo gw'obulanzi.
11
Ne ndaba eggulu nga libikkuse; laba, embalaasi enjeru! Eyali agyebagadde nga bamuyita Mwesigwa, wa Mazima, alamula era alwanira mu butuukirivu.
12
Amaaso ge nga gali ng'olulimi lw'omuliro; ku mutwe gwe ng'alina emige nkumu; ng'alina erinnya erimuwandiikiddwako eritaliiko mulala alimanyi wabula ye yekka.
13
Yali yeesuuliddeko omunagiro ogwannyikibwa mu musaayi, erinnya lye nga bamuyita 'Kigambo wa Katonda'.
14
Amagye ag'omu ggulu gaali gamugoberera nga geebagadde embalaasi enjeru, nga gayambadde engoye enjeru ezitukula.
15
Mu kamwa ke nga muvaamu ekitala ekyogi eky'okukubisa amawanga; ajja kugafuga ne ddamula ow'ekyuma; alisamba essogolero ly'omwenge gw'obusungu bwa Katonda Omuyinza wa buli kantu.
16
Ku munagiro gwe ne ku kisambi kye yalinako erinnya eriwandiikiddwa nti 'Kabaka wa bakabaka, Omukama w'abakama'.
17
Ne ndaba malayika omu ng'ayimiridde mu njuba, alaamiriza n'eddoboozi eddene ennyonyi zonna ezaali zibuuka mu bbanga nti: “Mujje, mukuŋŋaane ku kyeggulo kya Katonda,
18
mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama y'abagabe, n'ennyama ya bakirimaanyi, n'ennyama y'embalaasi n'abeebagazi baazo, n'ennyama ya bonna: ey'abaana ab'eddembe n'ey'abaddu, ey'abatene n'abanene.”
19
Ne ndaba ekisolo ne bakabaka b'ensi n'amagye gaabwe nga bakuŋŋaanye okulwanyisa oli atudde ku mbalaasi wamu n'eggye lye.
20
Ekisolo ne kiwambibwa, era wamu nakyo omulanzi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaakyo bwe yalimbisa abantu abaali bafunye akabonero k'ekisolo n'abaasinza ekifaananyi kyakyo. Abo bombi ne bakasukibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro ogw'ebibiriiti ebyaka.
21
Abasigaddewo ne battibwa n'ekitala ky'oyo atudde ku mbalaasi ekyali kiva mu kamwa ke; ennyonyi zonna ne zekkutira ennyama yaabwe.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22