bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 14
Revelation 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
1
Ate bwe natunula, laba Akaliga! Kaali kayimiridde ku lusozi Siyoni, ate ng'akasiriivu kamu mu obukumi buna mu enkumi nnya abaali balina erinnya lyako n'erinnya lya Kitaawe waako nga gawandiikiddwa mu byenyi byabwe baali awo nako.
2
Ate ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu nga liri ng'ery'amazzi amangi, era ng'ery'eraddu ey'amaanyi; eddoboozi lye nawulira nga liri ng'ery'abasunyi b'ennanga abaali basuna entongooli zaabwe.
3
Baali bayimba oluyimba oluggya mu maaso ga nnamulondo n'ag'ebiramu ebina n'ag'abakadde. Naye tewaali mulala yali ayinza kuluyiga, wabula abo bokka akasiriivu akamu mu obukumi obuna mu enkumi ennya abaali banunuliddwa okuva mu nsi.
4
Beebo abateegwagwawazanga na bakazi, anti babeererevu; beebo abagenda bagoberera Akaliga buli we kalaga; be babereberye mu bantu abaanunulirwa Katonda n'Akaliga.
5
Mu kamwa kaabwe temusangibwamu bulimba; tebaliiko musango.
6
Ate ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga, ng'alina evangili ey'emirembe gyonna ey'okubuulira abo abali ku nsi, buli ggwanga, buli kika, buli lulimi na buli bantu.
7
Yali ayogera n'eddoboozi eddene nti: “Mutye Omukama, mumusseemu ekitiibwa, kubanga obudde bwe butuuse obw'okulamula. Muvunnamire oyo eyakola eggulu n'ensi, ennyanja n'ensulo z'amazzi.”
8
Ne malayika omulala owookubiri n'agoberera ng'agamba nti: “Agudde, agudde Babiloni ow'ekitalo, oyo eyanywesa amawanga gonna omwenge gw'obugwagwa bwe.”
9
Malayika omulala owookusatu n'abaddirira ng'ayogera n'eddoboozi eddene nti: “Singa wanaabaawo avunnamira ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, n'afuna akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe,
10
ajja kunywa omwenge gw'obusungu bwa Katonda nga gufukiddwa mu kikompe ky'obusungu bw'Omukama, nga temuli katabikiddwamu. Ajja kubonyaabonyezebwa n'omuliro n'ebibiriiti mu maaso g'abamalayika abatuukirivu ne mu maaso g'Akaliga.
11
Erikka ery'ebibonoobono byabwe lirinyooka emirembe n'emirembe; abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli eyalambibwako akabonero k'erinnya lyakyo, tebaliweerako emisana n'ekiro.”
12
Wano abatuukirivu abakuuma ebiragiro bya Katonda ne basigala nga bakkiriza Yezu we basabibwa okubeera abagumiikiriza.
13
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Wandiika nti: ‘Beesiimye abafu n'okuva kati abafiira mu Mukama; Mwoyo agamba nti beesiimidde ddala; bawummulire ddala ku kutegana kwabwe, anti ebikolwa byabwe bibagoberera.’ ”
14
Bwe natunula, laba ekire ekyeru! Ku kire kwali kutuddeko eyali afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ku mutwe gwe nga kuliko engule eya zaabu, ate mu mukono gwe nga mulimu ekiwabyo ekyogi.
15
Awo malayika omulala n'afuluma mu Kiggwa, n'alangiriza n'eddoboozi eddene oli atudde ku kire nti: “Wuuba ekiwabyo kyo, okungule, kubanga obudde butuuse obw'okukungula; kubanga eby'okukungula eby'ensi byengedde.”
16
N'oli eyali atudde ku kire n'awuuba ekiwabyo kye mu nsi, ensi n'ekungulibwa.
17
Ne malayika omulala n'afuluma mu Kiggwa eky'omu ggulu nga naye alina ekiwabyo ekyogi.
18
Ne malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n'ava eri ku mwaliiro, n'alagiriza n'eddoboozi eddene nti: “Wuuba ekiwabyo kyo ekyogi osale ebirimba by'emizabbibu egy'omu nsi, kubanga emizabbibu gyayo gyengedde.”
19
Awo malayika n'awuuba ekiwabyo ekyogi mu nsi, n'akuŋŋaanya emizabbibu gy'ensi, n'agikasuka mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20
Okusamba mu ssogolero kwali bweru wa kibuga; omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, nga mu butumbiivu gukoma ku matandiiko g'embalaasi; ne gukulukuta sitadiyo lukumi mu lukaaga.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22