bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 3
Revelation 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
“Ne malayika w'Ekleziya mu Sarudi muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Oyo alina emyoyo gya Katonda omusanvu n'emmunyeenye omusanvu, nti: By'okola mbimanyi. Olina erinnya nti oli mulamu, sso ng'oli mufu.
2
Tunula, nyweza ebikyasigaddewo, ebisuliridde okufa, kubanga by'okola sibisanze nga bituufu mu maaso ga Katonda.
3
Jjukira kye wafuna ne kye wawulira; kikuume, weenenye. Bw'otootunule, nzija kujja ng'omubbi; tolimanya kabanga ke ndikujjiramu.
4
Sso era okyalinamu mu Sarudi amannya g'abamu abatonotono, abatayonoonanga byambalo byabwe; balitambula nange mu byambalo ebyeru, kubanga basaanye.
5
Aliba awangudde, alyambazibwa ebyambalo ebyeru, n'erinnya lye sigenda kulisangula mu kitabo kya bulamu; erinnya lye ndiryatula mu maaso ga Kitange ne mu ga bamalayika be.
6
Alina okutu, awulire Mwoyo ky'agamba Ekleziya.’
7
“Ne malayika w'Ekleziya mu Filadelufiya muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omutuukirivu, Omutuufu ddala, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo ne wataba aggalawo, aggalawo ne wataba aggulawo, nti:
8
By'okola mbimanyi. Kale nno ntadde mu maaso go omulyango omuggule ogutalina n'omu asobola kuguggala; mmanyi nti newandibadde ng'amaanyi olina matono, naye era wanyweza ekigambo kyange, teweegaana linnya lyange.
9
Kale nno nzija kuddira ab'omu sinaagooga ya Sitaani, abeeyita Abayudaaya sso nga si bwe bali, wabula abalimba; laba, nzija kubaddira bajje bavunname ku bigere byo, bategeere nti nakwagala.
10
Kubanga waguma nga bwe nagamba, nange nzija kukuwonya akadde ak'okugezebwa akagenda okubaawo ku nsi yonna, okugeza abo abali ku nsi.
11
Nzija mangu; ky'olina kinyweze, wabulewo atwala engule yo.
12
Aliba awangudde, ndimufuula empagi mu kiggwa kya Katonda wange; taliddayo kufuluma bweru, era ndimuwandiikako n'erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yeruzaalemu omuggya akkirira ng'ava mu ggulu ewa Katonda wange; ndimuwandiikako n'erinnya lyange eriggya.
13
Alina okutu, awulire Mwoyo ky'agamba Ekleziya.’
14
“Ne malayika w'Ekleziya mu Lawodikeya muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Oyo Amiina, Omwesigwa, Omujulirwa omutuufu ddala, Ensibuko y'ebyo Katonda bye yatonda, nti:
15
Mmanyi by'okola; tonnyogoga ate tobuguma; waakiri singa nno onnyogoga, oba singa obuguma.
16
Naye kubanga oli wa kasuususu, nga tonnyogoga ate tobuguma, ŋŋenda kukusesema mu kamwa kange.
17
Kubanga ogamba nti: “Ndi mugagga, nnina bingi, mpaawo kye njula,” n'otomanya nti oli munkuseere, akwasa ennaku, mwavu, muzibe wa maaso, oli bukunya.
18
Nkuwa amagezi weegulire ewange zaabu alongooseddwa mu muliro olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru oyambale, obwereere bwo obukuswaza buleme kulabika, n'omuzigo osiige amaaso go olyoke olabe.
19
Nze be njagala mbakomako ne mbabonereza. Kale nno weekakamule, weenenye.
20
Nzuuno nnyimiridde ku mulyango nkonkona; aliba awulidde eddoboozi lyange n'aggulawo oluggi, ndiyingira ewuwe ne ndya naye ekijjulo, nga tuli ffembi wamu.
21
Aliba awangudde, ndimuwa n'atuula nange ku nnamulondo, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku nnamulondo ye.
22
Alina okutu, awulire Mwoyo ky'agamba Ekleziya.’ ”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22