bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 5
Revelation 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Awo mu mukono ogwa ddyo ogw'oli atudde ku nnamulondo ne ndabamu ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu nga kisibiddwa n'envumbo musanvu.
2
Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'alangirira n'eddoboozi eddene nti: “Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula envumbo zaakyo omusanvu?”
3
Mu ggulu, ku nsi ne wansi w'ensi ne wabula asobola okubikkula ekitabo yadde okukitunulamu.
4
Nze ne nkaaba nnyo nga ndaba wabuzeewo eyasangibwa ng'asaanidde okubikkula ekitabo yadde okukitunulamu.
5
Omu ku bakadde kwe kuŋŋamba nti: “Leka kukaaba; laba Empologoma ey'omu kika kya Yuda, Ekikolo kya Dawudi, awangudde okubikkula ekitabo n'okubembula envumbo zaakyo omusanvu.”
6
Ne ndaba nga mu makkati ga nnamulondo n'ebiramu ebina ne mu bakadde wayimiriddewo Akaliga; kaali ng'akaali kattiddwako, nga kalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda egitumibwa mu nsi yonna.
7
Akaliga ne kajja, ne kaggya ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku nnamulondo.
8
Bwe kaamala okukwata ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu abana ne beeyala mu maaso g'Akaliga, buli omu ng'akutte entongooli n'ebikopo ebya zaabu ebijjudde obubaani, anti ze ssaala z'abatuukirivu.
9
Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bagamba nti: “Osaanidde okufuna ekitabo n'okubembula envumbo zaakyo; kubanga wattibwa n'onunulira Katonda abantu n'omusaayi gwo okuva mu buli kika na buli lulimi, mu buli bantu na buli ggwanga,
10
n'obafuula obwakabaka ne bakabona okuweereza Katonda waffe, era balifuga ku nsi.”
11
Awo ne ntunula, ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumu abeetoolodde nnamulondo, ebiramu n'abakadde, omuwendo gwabwe nga bukadde na bukadde, nkumi na nkumi,
12
nga boogera n'eddoboozi eddene nti: “Akaliga akattibwa kasaanidde okuba n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi n'amaanyi, n'ettendo, n'ekitiibwa n'okugulumizibwa.”
13
Ebitonde byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi n'ebiri mu nnyanja, leero byonna ebibirimu, ne mpulira nga bireekaana nti: “Atudde ku nnamulondo n'Akaliga, bombi basaanidde okufuna okugulumizibwa, n'ettendo, ekitiibwa, n'obuyinza emirembe n'emirembe.”
14
Ebiramu ebina ne bigamba nti: “Amiina,” n'abakadde ne beeyala, ne basinza.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22