bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 20
Revelation 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Ate era ne ndaba malayika ng'akkirira ng'ava mu ggulu, ng'alina mu mukono gwe ekisumuluzo ky'ennyanga n'olujegere olunene.
2
N'awamba Ssessota, omusota ogwo ogw'edda, Omuloopi era Sitaani, n'amusibira emyaka lukumi,
3
n'amukanyuga mu nnyanga, n'aggalawo omulyango, n'amusibiramu n'envumbo aleme kwongera kulimba mawanga okutuusa ng'emyaka olukumi giyiseewo. Oluvannyuma lw'egyo aliteebwa okumala akabanga.
4
Ate ne ndaba nnamulondo, abazituddeko nga beebo abaaweebwa obuyinza okulamula. Era ne ndaba emyoyo gy'abantu abaatemebwako emitwe olw'okujulira Yezu n'olw'okubeera ekigambo kya Katonda. Beebo abataasinza kisolo n'ekifaananyi kyakyo, era abataafuna kabonero kaakyo mu kyenyi oba ku mikono gyabwe. Ne baddamu ne babeera balamu, ne balamula wamu ne Kristu emyaka lukumi.
5
Abafu abalala tebaalamuka okutuusa emyaka olukumi nga giwedde; okwo kwe kuzuukira okusooka.
6
Yeesiimye era mutuukirivu oyo agabana ku kuzuukira okusooka! Bano okufa okwokubiri tekubalinaako buyinza, wabula bagenda kubeera bakabona ba Katonda na bakabona ba Kristu; baliramula naye emyaka lukumi.
7
Emyaka olukumi nga gimaze okuyita, Sitaani alisumululwa mu kkomera lye,
8
n'afuluma, n'alimbalimba amawanga agali mu nsonda ennya ez'ensi, ge ga Gogi ne Magogi, n'agakuŋŋaanya okulwana; obungi baliba ng'omusenyu gw'ennyanja.
9
Baazinda wonna ku nsi, ne bazingiza olusiisira lw'abatuukirivu n'ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro gwava mu ggulu ne gubawemmenta,
10
n'omukemi eyali abalimbyerimbye n'akanyugibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ebibiriiti, ekisolo n'omulanzi ow'obulimba gye baali; eyo gye balibonyaabonyezebwa emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
11
Awo ne ndaba nnamulondo ennene, enjeru, nga kuliko atuddeko; eggulu n'ensi ne bidduka okuva mu maaso ge, naye ne wabula ekifo ew'okubibeeza.
12
Ne ndaba abafu, abanene n'abatene, nga bayimiridde mu maaso ga nnamulondo, ebitabo ne bibikkulwa. Ekitabo ekirala ne kibikkulibwa, kye kitabo ky'obulamu; abafu ne balamulibwa ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo, ku ebyo bye baali bakoze.
13
Ennyanja n'ereeta abafu be yalina; olumbe ne luleeta abafu baalwo, n'amagombe ne galeeta abaago; buli omu n'alamulibwa ku bye yakola.
14
Amagombe n'olumbe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Okwo kwe kufa okwokubiri, ennyanja ey'omuliro.
15
Oyo ow'erinnya eritaasangibwa nga liwandiikiddwa mu kitabo ky'obulamu, yakanyugibwa mu nnyanja ey'omuliro.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22