bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 7
Revelation 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
1
Oluvannyuma lwa kino, nalaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi nga banyigiriza empewo ez'ensi zireme kukuntira ku nsi, ku nnyanja newandibadde ku muti n'ogumu.
2
Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu; n'akoowoola n'eddoboozi eddene ng'alangiriza bamalayika abana abaali bafunye obuyinza okukola akabi ensi n'ennyanja,
3
n'abagamba nti: “Muleke kukola kabi nsi na nnyanja newandibadde emiti, tumale okussa ku baweereza ba Katonda waffe akabonero ku byenyi byabwe.”
4
Ne mpulira omuwendo gw'abo abassibwako akabonero nga bawera akasiriivu kamu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaggyiddwa mu buli kika ky'abaana ba Yisirayeli:
5
Akakumi kamu mu enkumi bbiri abassibwako akabonero okuva mu kika kya Yuda, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Rubeni, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Gaadi,
6
akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Aseri, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Nafutali, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Manasse,
7
akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Simewoni, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Leevi, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Yissakari,
8
akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Zebuluni, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Yozefu, akakumi kamu mu enkumi bbiri abassibwako akabonero okuva mu kika kya Benyamiini.
9
Oluvannyuma, bwe natunula, laba ebbiina eddene eritalina muntu n'omu asobola kulibala, nga bava mu mawanga gonna ne mu bika byonna ne mu bantu n'ennimi zonna, nga bayimiridde mu maaso ga nnamulondo ne mu maaso g'Akaliga, bambadde engoye enjeru n'ensansa nga zibali mu ngalo,
10
nga baleekaana n'eddoboozi eddene nti: “Katonda waffe awaŋŋamye ku nnamulondo era n'Akaliga be bannannyini kulokola.”
11
Bamalayika bonna baali bayimiridde nga beebunguludde nnamulondo n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe mu maaso ga nnamulondo, ne basinza Katonda
12
nga bagamba nti: “Amiina! Katonda waffe agulumizibwe, afune ekitiibwa n'amagezi, yeebazibwe, afune ettendo, obuyinza n'amaanyi emirembe n'emirembe. Amiina.”
13
Awo omu ku bakadde n'ayogera n'ambuuza nti: “Abo abambadde engoye enjeru be baani era bava wa?”
14
Ne muddamu nti: “Ssebo, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nti: “Abo be baayita mu kubonaabona okunene; baayoza engoye zaabwe ne bazaamula mu musaayi gw'Akaliga.
15
“Kyebava babeera mu maaso ga nnamulondo ya Katonda ne bamuweereza mu Kiggwa kye emisana n'ekiro. N'oyo atudde ku nnamulondo alibanjululizaako weema ye.
16
Tebaliddayo kulumwa njala, oba okulumwa ennyonta, yadde enjuba oba ebbugumu eddala lyonna okubookya.
17
Kubanga Akaliga mu makkati ga nnamulondo, ke kanaabafuganga; kalibatuusa ku nsulo z'amazzi ag'obulamu; ne Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22